• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Minisita Jim Muhwezi yeegaanye eby’okutulugunya abavunaana mukyamu

Gambuuze by Gambuuze
February 23, 2022
in Amawulire, Eby'obufuzi
0 0
0
Minisita Jim Muhwezi yeegaanye eby’okutulugunya abavunaana mukyamu
0
SHARES
77
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Musasi Waffe

Kampala

Minisita w’obutebenkevu (Security) mu ggwanga, Maj. Gen.Jim Muhwezi ategeezezza nti ebimuvunaanwa ab’oludda oluvuganya nti yalagajjalira omulimu gwe abantu b’akulembera ne balinnyirira eddembe lya bannansi si bituufu kuba naye talina ky’amanyi.

Muhwezi ategeezezza nti ye ng’omuntu tawagira bikolwa ebyokutulugunya bannansi, kale ng’okumulumiriza n’okwagala okumuggyamu obwegise kubeera kumulanga bwemage.

Kino kiddiridde akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti, Mathias Mpuuga Nsamba okutandika ku nteekateeka y’okukung’aanya  emikono okuggyamu Minisita Muhwezi obwesige olw’okutunula obutunuzi ng’eddembe lya bannansi lityoboolwa.

Eggulo ku Lwokubiri, Owek. Mpuuga yafulumizza olukalala olwalaze ng’ababaka abawera 81 bwe baamaze edda okuteeka emikono ku kiwandiiko kino wadde ng’etteeka liragira omuwendo gw’ababaka ogwessalira okubeera 176 okusobola okutuukiriza kino era abavuganya balina essuubi nti nsalessale w’anaatuukira ng’emikono giweze.

Minisita Muhwezi agamba nti bwekiba kyakunoonya muntu mutuufu alina okugyibwamu obwesige alina kubeera minisita mulala oba ow’ebyokwerinda oba ensonga z’omunda mu ggwanga kuba bano be bakwatibwako ensonga zino obutereevu.

Ono era annyonyodde nti akimanyi bulungi nga  gavumenti mwakolera bwe tawagira bikolwa byakutulugunya bantu era kino kyeraze lwattu ng’Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni avaayo entakera n’alabula ab’ebyokwerinda okukomya okutulugunya abantu era n’akakasa nti oyo yenna anaakwatibwa mu kikolwa kino ajja kuvunaanibwa.

Kinajjukirwa nti abawagizi b’oludda oluvuganya gavumenti bazze balumiriza ebitongole ebikuuma ddembe okuwamba abawagizi baabwe ne babasibira mu bifo ebitamanyiddwa mu mateeka ne batulugunyizibwa, ne batuuka okuyimbula nga bonna bajjudde ebisago n’enkovu, n’abandi okusibwa ne batatwalibwa mu kkooti kwewozaako.

Abakyasembyeyo ye muwandiisi w’ebitabo Rukirabashaija Kakwenza n’omukwaganya w’ekibiina kya NUP e Kasese, Samuel Masereka abaatulugunyizibwa ebitagambika.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist