• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Minisita Baryomunsi alabudde Enanga ne Kiwanda  ku by’okumuyingiza mu by’okuwa Oulanyah obutwa

Gambuuze by Gambuuze
April 12, 2022
in Amawulire
0 0
0
Minisita Baryomunsi alabudde Enanga ne Kiwanda  ku by’okumuyingiza mu by’okuwa Oulanyah obutwa
0
SHARES
48
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala – Kyaddondo

Minisita w’ebyamawulire n’okulung’amya eggwanga,  Dr.Chris Baryomunsi atabukidde omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ku ngeri gy’akolamu emirimu gye gyagamba nti telaga buvunaanyizibwa.

Kino kiddiridde Enanga okutegeeza nga bwebagenda okuyita abantu abawerako omuli ne Minisita Baryomunsi bannyonnyole ku bitambuzibwa nti eyabadde Sipiika Jacob Oulanyah yafa butwa.

Bweyabadde ayogerako eri bannamawulire ku Mmande omwogezi wa poliisi Fred Enanga, yategeezezza  nti Ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda,  Minisita Baryomunsi,  Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi, taata w’omugenzi Nathan Okori, Omubaka Gilbert Oulanyah awamu n’abalala balina okweyanjula boogere kyebamanyi.

Bw’abadde mu lukungaana lwa bannamawulire leero ku ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti mu Kampala, Minisita Baryomunsi agamba nti kikyamu  Enanga okulaga nga bwagenda okuyita taata wa Jacob Oulanyah, Nathan Okori mukiseera kino nga akyakungubagira omwana we  nga engeri Enanga gyakolamu ebintu bye yacamuka nabuteebuuza.

“Kikyamu okuyita taata w’omugenzi eyakafiirwa. Watuuse Enanga ajja kuyita n’omugenzi Jacob Oulanyah okweyanjula gyali. Alina okukomya okucamuka n’okunnyingiza mu nsonga ze,” Minisita Baryomunsi bw’ategeezezza.

Okusinziira  ku Baryomunsi kikyamu Enanga okuyingiza erinnya lye mu by’obutwa bwa Oulanyah nga akimanyi bulungi nti Baryomunsi tayimirirangako wantu wonna nagamba nti enfa ya Oulanyah erimu obutwa.

Wabula ku Mmande Enanga yagambye nti bagenda kuyita Baryomunsi kuba Kiwanda amujuliza nti oluvannyuma lwa Oulanyah okumugamba nga bweyaweebwa obutwa nga yakafuuka Sipiika yamubuulirako namubuuza kyebalina okukola.

Ate ye Kiwanda ku Lwomukaaga yannyonnyodde nti wadde omufu yamugamba obutabaako gwakibuulira naye yabuulirako Baryomunsi nga ayagala basale amagezi.

Enanga yatangaazizza nti buli aliko kyeyayogera nti Oulanyah yaweebwa obutwa alina okwekeneenyezebwa era abagatambuza  nalaga n’obukakafu bw’alina ku nsonga eno kuba alipoota y’abasawo yalaga nti omugenzi yafa lwa bitundu bye eby’omubiri okulemererwa.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist