Bya Gladys Nanyombi
Mmengo
Omumyuka asooka owa Katikkiro,Owek. Twaha Kaawaase Kigongo, alangiridde essaza lya Mawokota ku buwanguzi bw’engule y’essaza erisinze mu gavumenti mu mwaka 2020.
Omukolo Mawokota kw’eriridde e Mpanga gubadde mu Bulange leero ku Mmande era nga gwetabiddwako ab’amasaza ab’enjawulo wamu n’abeebitiibwa mu Bwakabaka.
Mawokota yawangudde amasaza amalala n’obubonero 84 era nga lino liddiriddwa Kyaddondo n’obubonero 78 ate Bulemeezi n’ejja mu kyokusatu n’obubonero 76 n’amalala ne gagoberera.
Owek. Kaawaase agambye nti Buganda okusobola okudda ku ntikko kibeera kikulu okunyweza enteekateeka ya gavumenti ez’ebitundu kubanga ezingiramu ebintu ebyenjawulo.
“Tojja kugamba nti ojja kukuuma n’okunyweza Nnamulondo ng’ebitundu bya Buganda tebimanyi kigenda mu maaso, ate we kituuka ku Federo tolina ngeri gy’oyinza kugitambuza nga toyise mu ebyo ebitundu okuviira ddala ku mutongole wansi okwambukira ddala okutuuka ku Ssaabasajja Kabaka.” Kaawaase bw’ategezeezza.
Okusinziira ku bategesi b’empaka zino okuzuula omuwanguzi baasinzidde ku ngeri essaza gye lituukirizaamu emirimu gy’Obwakabaka.
Kaawaase agambye nti gavumenti ez’ebitundu zikola omulimu munene mu kunyweza ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano nga tolina bw’oyinza kuzitwala mu maaso nga toyise mu gavumenti za bitundu.
Bano abasabye okukola buli kimu okulaba nga bagazisa abantu okukola Bulungibwansi awamu n’okukuuma obutonde bwensi.
Ye Minista avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki alaze bye batunuulidde okutuuka ku muwanguzi w’emapaka zino.
Muno mulimu abaami abatwala amasaza okwetaba mu nkiiko ez’enjawulo, enkwanaganya y’emirimu wamu n’entambula yaagyo mu masaza, enteekateeka y’okuggulawo woofiisi n’okuziddukanya, okutuuza enkiiko mu nkola ya ZOOM awamu n’ebirala.
Minisita Kawuki annyonnyodde nti buli ssaza baliwadde obubonero okusinziira ku ngeri gye liddukanyaamu emirimu gyalyo.
Wano Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika w’asinzidde n’asaba abatawangudde obutaggwaamu maanyi naye beetegekere omulundu omulala.
Omwami w’essaza Mawokota, Owek. Gabriel Kabonge, agambye nti ekibawanguzizza kwe kuteeka amaanyi mu pulojekiti ezeekuusa ku nkulaakulana wamu n’obumu.
Beene yasiima n’awaayo ennaku z’omwezi eza 8/10 eza buli mwaka okujagulizaako olunaku lwa gavumenti ez’ebitundu awamu ne Bulungibwansi era nga wano essaza erisinze we baliweera engabo wamu n’ebbaluwa erisiima.