
Bya Ssemakula JohnNjeru – Kyaggwe
Ttiimu y’essaza ly’e Kyaggwe yeesozze omutendera ogwa Kkwota fayinolo ogw’empaka z’amasaza ga Buganda, bw’ekubye Bugerere ggoolo 4 -2 mu mupiira gwayo ogusembyeyo ogw’ekibinja Bulange.
Mu ngeri yeemu ttiimu ya Busiro nayo yeegasse ku Kyaggwe okusamba omutendera oguddako ng’emalidde mu kifo kyakubiri.
Kyaggwe ekulembedde ekibinja kino n’obubonero 7 ne ggoolo 3 ate nga Busiro emalidde mu kifo kyakubiri nga nayo ebadde n’obubonero 7 ng’enjawulo ebadde mu ggoolo.
Omutendesi wa Kyaggwe, Felix Ssekabuuza agamba nti ekigendererwa kyabwe mu mpaka z’omwaka guno, kya kuwangula kikopo kuba buli kimu kitambula bulungi.
Mu kibinja kino, Bugerere emalidde mu kifo kyakusatu n’obubonero 3 ate nga Buvuma y’esembye nga tefunyeeyo kabonero konna.
Empaka zino zigenda kuddamu okuzannyibwa olunaku olw’enkya n’emipiira egy’ekibinja Butikkiro.