
Bya Miiro Shafik
Bugoloobi – Kyaddondo
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ng’asinziira ku Silver Springs e Bugoloobi atongozza kaawa atuumiddwa ‘Kinywa Coffee’ ng’ono akolebwa Omw. Lazarus Kinywamacunda omulimi w’emmwanyi e Lyantonde.

“Obwakabaka bukyali nnyo ku nsonga y’emmwanyi mu kaweefube waffe owa Emmwanyi Terimba era essira tulitadde mu kukubiriza bantu okulinyisa omutindo gw’emmwanyi, abavubuka n’abakyala okwenyigira mu kulima emmwanyi n’abantu okuyiga okunywa kaawa” Owek. Nsibirwa.
Owek. Nsibirwa nga y’akiikiridde Katikkiro mu kutongoza kaawa ono, ategeezeza nti emmwanyi ekoze kinene nnyo mu kukyusa embeera z’abantu mu Buganda era waliwo okugenda mu maaso kwa maanyi ddala okuva kaweefube wa Emmwanyi Terimba bwe yatandikibwawo mu 2016. Bwatyo alaze nga bwe waliwo n’enteekateeka z’Obwakabaka endala nnyingi eziruubirirwamu okunnyikiza ebyobulimi mu Buganda, anokoddeyo ekya Kabaka okuwa buli ssaza kalakita ezirima ne zi ssemadduuka z’ebyobulimi ezigenda okuzimbibwa mu buli ssaza, nga bino byonna bya kwongera okutojjeza ebyobulimi mu Buganda

“Buli muntu asaana okulima emmwanyi kubanga; kirime kyaffe kya dda ekyatukuza, ne kitusomesa era ne kigaggawaza Bakitaffe, ky’ekirime ekisinga ebbeeyi wano mu Uganda ate ng’akatale kaazo weekali wano n’ebweru, emmwanyi terimba kubanga erina amagoba malungi, omuntu kilo gy’afulumiza ku nnusu lukumi mu bibiri (1,200), ate agifunamu omutwalo gumu n’ekitundu (15,000) n’okusoba, omuntu alina omusiri gw’emmwanyi ate asobola n’okusimbamu emmere nga amatooke, omuwogo, ebijanjalo n’ebirala, ate emmwanyi tebigowala” Owek. Nsibirwa annyonyodde.
Owek. Nsibirwa alaze nti newankubadde abantu bajjumbidde okulima emmwanyi, wakyaliwo obwetaavu okulinyisa obungi bwa kaawa anywebwa wano. Ono agamba nti emmwanyi za Uganda zirina akatale ebweru, naye Bannansi nabo bateekwa okuzinywa okufaananako n’amawanga amalala agalima emmwanyi, nga kino bwe kinaakolebwa, omulimi ajja kwongera okufuna mu ntuuyo ze.

Owek. Waggwa yebazizza Mw. Lazarus olw’okujjumbira okulima emmwanyi ate n’asalawo n’okuzigattako omutindo ng’azisiikamu kaawa, era wano ategeezeza nti newankubadde Obwakabaka bukola kaawa, naye buwagira abantu bonna okugatta omutindo ku mmwanyi kasita bakolamu eby’omutindo.
Omukozi wa Kaawa era omulimi w’emmwanyi Lazarus Kinywamacunda olugendo lwe mu kulima emmwanyi alwesigamya ku butatya kutandika, ono agamba nti bingi by’ayiseemu omuli okuyingira obulimi bw’emmwanyi nga talina kyabumanyiiko wabula nga kati mukugu ddala okutuuka ne ku mutendera gw’okusiika kaawa.
Ono alina yikka z’emmwanyi 70 kati, akubirizza abantu obutatya kutandika, okutandika n’ekitono kye basobola okuyimirizaawo, okufaayo okuyiga emitendera gy’ekyo ky’ogenda okutandika, okuyisa obulungi abakozi mu by’ensasula n’embeera zaabwe eza bulijjo, ate n’okufaayo okulondoola entambuza y’emirimu buli kiseera n’okugyenyigiramu.
Yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olwa kaweefube wa mmwanyi terimba gw’agambye nti azuukusiza nnyo obukozi mu bantu ate ebibal bye birabwako. Agamba nti emmwanyi yakazirimira emyaka 3 gyokka naye ekimuyambye okuzifunamu, kwe kufaayo okunonyereza n’okukola n’okwagala mu buli ky’akwatako.
