• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Luttamaguzi, Mpuuga, Ssebunnya n’abalala balayidde, balaze kwe batandikira

Gambuuze by Gambuuze
May 19, 2021
in Amawulire
0 0
0
0
SHARES
72
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John
Kampala

Olwaleero ababaka ba Palamenti y’e 11 abalala bayingidde olunaku olw’okusatu nga balayira okunywerera ku ssemateeka wamu n’okuweereza bannayuganda awatali kwe balira mu nteekateeka eno egenda okumala ennaku 4 ennamba. Ababaka abalayidde enkya ya leero omubadde Omubaka wa Nyendo Mukungwe, Owek. Mathias Mpuuga, era ono ategeezezza nga bw’agenda okukola ennyo okulaba nga bawaliriza gavumenti okutambulira ku nfuga ey’amateeka mu kisanja kino.
“Tusobola okutwala amazzi amayonjo mu byalo ne tuzimba n’amasomero naye bwe tutabeera na nfuga y’amateeka tetusobola kugenda mu maaso.” Owek. Mpuuga bw’agambye olumaze okulayira.

Mpuuga ategeezezza nti bo ng’abaludde mu Palamenti, baakuyamba okubangula abavubuka abato abayingidde mu Palamenti ye 11 kuba nabo baaliko abapya.
Abalala abalayidde ye mubaka, Amos Lugoloobi owa Ntenjeru North mu Kayunga n’omuyimbi era omubaka wa Kakuuto mu Palamenti, Geofrey Lutaaya.

Omubaka Luttamaguzi Ssemakula owa Nakaseke South naye akubye ebirayiro enkya ya leero. Omubaka wa Nakaseke Central mu Palamenti, Allan Mayanja Ssebunnya naye alayidde era ono ategeezezza ng’essira bw’agenda okuliteeka ku kutumbula embeera z’abantu abasookerwako mu kitundu kye.

Mu babaka abalala abalayidde ye munnamateeka era omubaka omukyala omulonde owa Kampala, Shamim Malende, omubaka omukyala owa Kalungu era eyali Minisita Idah Nantaba, Muwanga Kivumbi, Nandala Mafabi awamu n’abalala.
Omubaka omukyala omulonde owa Bugweri era omuyimbi Rachel Magoola, Moses Magogo nabo balayidde awamu n’abakiise b’amagye mu palamenti okuli omuduumizi wa UPDF, Gen. David Muhoozi.

Ate ye muwala wa Minisita Kuteesa olumaze okulayira n’ayambalira abantu abamugamba nti famire ye yeefuze ebifo by’obukulembeze n’ategeeza nti bannamawogola baamulonda mu bungi era n’asuubiza okukola buli kimu okutereeza embeera zaabwe.

Ababaka abalala okuli; Jim Muhwezi, John Musila owa Bubulo East, omubaka omukyala owa Mbale, Miriam Mukhaye, nabo bakubye ebirayiro. Palamenti w’egendedde mu kuwummulamu ng’ababaka 68 bamaze okulayira.

Buli omu ku bano akubye ebirayiro okuli okugondera Ssemateeka n’okugondera amateeka ga Palamenti nga tebannatandika kisanja kyabwe eky’emyaka ettaano era ne baweebwa Ssemateeka w’eggwanga awamu n’amateeka agafuga Palamenti okubakakasa nti emirimu bagitandise.
Emikolo gy’okulayiza ababaka gikyagendera ddala mu maaso okutuusa olunaku olw’enkya era eno Palamenti y’e 11 eyingidde ebyafaayo ng’emu ku Palamenti ezigenda okusingamu ababaka nga bagenda kubeera 529.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.