Bya Francis Ndugwa
Kampala
Eyavuganyiza ku kkaadi ya National Unity Platform ku bwapulezidenti, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, addukidde mu kkooti n’agisaba okusazaamu obuwanguzi bwa Museveni era eragire akakiiko k’ebyokulonda kaddemu kategeke okulonda.
Kino kiddiridde akakiiko k’ebyokulonda okulangirira ebyenkomeredde ku byava mu kulonda Ssabbiiti ewedde, ku bino Pulezidenti Museveni yafuna obululu 6,042898 by’ebitundu 58.36 ku buli 100 (58.36%) ate Kyagulanyi n’afuna 3,631437 by’ebitundu 35.08 ku buli 100 (35.08%).
Mu mpaaba ye, Kyagulanyi awaabidde, Yoweri Museveni Tibuhaburwa Kaguta, akakiiko k’ebyokulonda wamu ne Ssaabawolereza wa gavumenti.
Mu mpaaba ye, Kyagulanyi agamba nti kkampeyini wamu n’okulonda kwennyini tebyali bya bwenkanya nga baalemesebwa okutuuka ku balonzi, ekintu ekikontana ne Ssemateeka.
“Okulonda kuno kwali kufu olw’ensonga nti tekwatambulira ku Ssemateeka wadde etteeka erirung’amya okulondebwa kwa Pulezidenti erya Presidential Elections Act wamu n’erifuga akakiiko k’ebyokulonda.” Kyagulanyi bw’ategeezezza.
Ono agamba nti poliisi yalemesa enkung’aana ze emirundi egiwera, ezimu tezaakubibwa wadde ng’akakiiko k’ebyokulonda kaali kazikkiriza.
“Wadde ng’akawayiro nnamba 2 ne 3 mu tteeka erifuga okulondebwa kwa Pulezidenti likkiriza eyeesimbyewo okwebuuza ku bantu naye amagye ga UPDF ne poliisi bamulemesa okwebuuza ku bantu bwe yali ategeka okwesimbawo.” Kyagulanyi bw’agasseeko.
Bobi Wine era alumiriza akakiiko k’ebyokulonda okufulumya ebiragiro bya Ssennyiga Corona ebikambwe, ekyalemesa kkampeyini okubeera ez’obwenkanya ate ebiragiro bino Museveni n’atabigoberera.
Ono alaze nti kino kyali kimenya ennyingo za Ssemateeka okuli; 1, 8A, 20(2), 28, 29,38 ne 43 wamu n’etteeka erifuga okulondebwa kwa Pulezidenti, etteeka lya Elections Act awamu n’erifuga akakiiko k’ebyokulonda.
Kyagulanyi agamba nti kyali kikyamu akakiiko k’ebyokulonda okuwera enkung’aana za kkampeyini mu disitulikiti okuli; Jinja, Kabale, Kalungu, Masaka, Tororo, Luweero, Wakiso , Mukono, Mbarara, Kabarole, Kasese ne Kazo, ne balinnyirira eddembe lya bannayuganda ery’okukung’aana n’okwetaba n’abalala.
Bobi Wine agamba nti ku lunaku lw’okulonda, akakiiko kaalemwa okutangira abantu okulonda emirundi egiwera wamu n’okubba obululu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era ne balemwa okulangirira n’okuwa bannayuganda ebyava mu kulonda ebituufu.
Ono era alumiriza gavumenti okugaana okukola ennoongoosereza mu mateeka ezaalagirwa kkooti ensukkulumu bwe yali esala omusango gwa Amama Mbabazi mwe yali awakanyiza ebyava mu kalulu.
Kati Kyagulanyi ayagala kkooti ensukkulumu erangirire nti okulonda kwa January 14, 2021 tekwategekebwa mu mateeka, era nti Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni yalangirirwa mu bukyamu era wategekebwe okulonda okuggya.