• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kkalamu Ngabo; Abayizi 72 be bafunye bbasale z’Obwakabaka okusoma siniya esooka, 2026

Gambuuze by Gambuuze
February 23, 2026
in Amawulire
0 0
0
Kkalamu Ngabo; Abayizi 72 be bafunye bbasale z’Obwakabaka okusoma siniya esooka, 2026
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo-Kyaddondo

Kkalamu ngabo y’enteekateeka ya Ssaabasajja wansi wa Kabaka Education Fund eweerera abayizi ebisale byonna mu bujjuvu mu masomero gye baba basindikiddwa okusoma nabo batuukirize ebirooto byabwe era omwaka 2026 mu siniya esooka abayizi 72 bokka be bafunye omukisa okuweererwa ensawo ya Kabaka mu nteekateeka ya Kkalamu Ngabo.

Abayizi bano bakwasiddwa amabaluwa agabakakasa mu nteekateeka eno ku Bulange e Mmengo nga ekulembeddwamu minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltida Nakate Kikomeko.

Mu kubakwasa ebbaluwa zino Minisita Nakate Kikomeko abuliridde abayizi abafunye bbasale okufaayo okusoma ennyo bakuume omutindo n’ekitiibwa kya Buganda.

“Tuli mu mulembe omuggya ogw’okukola emirimu kyokka mu mulembe omuggya wazzeewo n’enkola empya Katikkiro gye yatongoza eya situla omutindo kwegamba buli ky’okola olina kuba nga okikolera ku mutindo ogwa waggulu kale bwemunaagenda mu masomero eyo gwe bano bwe bekanya okukola eyo ku ssomero gwe oteekwa okuba mu maaso gaabwe okuva mu mizannyo, okuwaata emmere, okwenyigira mu bibiina bya Nkobazambogo so ffe tetusuubira kutuyita lwa nneyisa mbi ku ssomero gye tubasindise” Minisita Nakate.

Omukwanaganya w’ebyenjigiriza mu Bwakabaka Leticia Nakimuli ye asabye abazadde obutasuulirira buvunanyizibwa bwabwe nga abaana babalekera amasomero ne Ssaabasajja olwokuba babakwasirizaako ku bisale.

Ate Omukwanaganya wa Kabaka Education Fund, Emmanuel Kazibwe akubirizza abayizi okunyiikira okusoma kyokka nga bakomawo okumanyisa woofiisi ya KEF byonna ebirungi n’ebisomooza bye banaaba bafunye ku masomero gye basindikiddwa.

Naluyinda Justine ow’e Ndejje nga ye muzadde wa Kiweewa Amid afunye bbasale yeyanzizza nnyo Ssaabasajja olw’okumukwasizaako kuba alaze nti wadde mutabani we yakola bulungi essuubi abadde alina ttono ery’okumutandisa okusoma kati.

Ssali Isaac nga muyizi afunye bbasale ku Agrey Memorial School yeyanzizza Nnyininsi olwa bbasale eno kuba ng’agamba alina ekirooto ky’okusoma okumalako ekyongedde okutangazibwa Kabaka.

Namirimu Promise nga ye wakusomera ku Horizon Girls Secondary School wansi wa KEF aweze okwongera okusoma obulungi akume ekitiibwa kya Nnamulondo.

Abayizi babakwaziza empapula ezibanjula mu masomero Ssaabasajja gy’agenda okubawererera okumala emyaka ena nga ate basobola okweyongerayo n’emisomo gyabwe singa banyiikira okusoma obulungi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.