Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi mu Kampala n’emiriraano etandise okuyigga abatemu abaakubye munnabyamizannyo omukubi w’ebikonde, Zebra Isaac Ssenyange, abadde amanyiddwa nga ‘Mando’ amasasi agamutiddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, ASP Luke Owoyesigyire, bye baakafunawo biraga nti omugenzi yaggyiddwa mu nnyumba ye abantu abatannategerekeka ababadde mu mmotoka bbiri ne bamutta mu buwanvu bwa mmita 400 okuva ku maka ge.
Ssenyange omutuuze wa St. Francis Zone, Bwaise III wano mu Kampala, yabadde ayambako okutendeka bakanyama b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) ekikulirwa Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Enkya ya leero poliisi ekedde kukung’aanya obujulizi mu kifo wamu n’ebisosonkole by’amasasi era omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago okwongera okugwekebejja.
Mukyala wa Ssenyange, Mercy Mukankusi, annyonnyodde nti baalumbiddwa ku ssaawa nga musanvu ez’ekiro era ng’abaabalumbye baabadde bambadde ebibikka ku mitwe nga tebategeerekeka.
Ssenyange yaliko kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde emanyiddwa nga Bombers era ng’asinga kujjukirwa olw’okugikulembera mu mpaka za All Africa Games ez’omulundi ogwe 10 ezaayindira mu kibuga Maputo ekya Mozambique mu 2011.
Mando w’afiiridde nga mukozi w’ekibiina ekitwala omuzannyo gw’ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation owa guno na guli era nga mutendesi wa Bombers nga kuno kw’abadde agatta okutendeka kkiraabu ye eya Zebras Boxing Club.