Bya Ssemakula John
Kireka
Abantu babiri be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akagudde e Kireka ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja olwaleero oluvannyuma lwa mmotoka kika kya Isuzu nnamba UAY 545F okubasaabala.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, ategeezezza nti akabenje kano kagudde Kireka okuliraana kkampuni ya Global Paints era ng’abafudde babadde batambulira ku boodabooda nnamba UEF 765F nga babadde bava Mukono nga badda Kampala.
Poliisi egamba nti abagenzi kuliko; abadde avuga boodabooda eno Musa Julius nga mutuuze w’e Bweyogerere mu Kireku n’omulala ategeerekeseeko erya Akanunaho. Ate mukyala asimattuse akabenje kano tategeerekese linnya.
Obutambi obuggyiddwa ku kkamera za poliisi bulaga nti waliwo omukazi atategeerekese mannya abadde agezaako okusala ekkubo wabula n’atomerwa boodabooda era n’abantu ababiri abagibaddeko ne baggwa wakati mu luguudo.
Okusinziira ku poliisi, Isuzu wano w’ebasanze n’ebatomera
“Tusaba abavuzi b’ebidduka okwewala okuvugisa ekimama n’endiima era bakimanye nti waliwo n’abantu abalala abakozesa enguudo zino.” Onyango bw’agambye.
Onyango annyonnyoddde nti emmotoka ekoze akabenje kano nayo edduse wabula nga baatandise dda okuginoonya ate ng’emirambo gy’abafudde gitwaliddwa mu ggwanika e Mulago okwongera okwekebejjebwa.
Okusinziira ku poliisi y’ebidduka, abantu abawera 3,880 be baafiira mu bubenje mu mwaka gwa 2019 ate 9,635 ne bafuna ebisago ebyamaanyi, abalala 1,175 ne bafuna ebisago ebitali by’amaanyi.
Poliisi y’ebidduka erumiriza nti obubenje buno okusinga buva ku kuvugisa kimama, kuvuga ndiima wamu n’ebidduka ebiri mu mbeera embi.