• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

King’s College, Budo ettaddewo ekizimbe okujjukira Ssekabaka Daudi Chwa II

Gambuuze by Gambuuze
March 1, 2026
in Amawulire
0 0
0
King’s College, Budo ettaddewo ekizimbe okujjukira Ssekabaka Daudi Chwa II
0
SHARES
1
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Buddo – Busiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo ekizimbe ku King’s College Budo ekibuddwa mu Ssekabaka Daudi Chwa II okumujjukira olw’okuwaayo ettaka okutudde essomero lino eryatandikibwawo mu 1906.

“Lwe nasembayo okujja wano mu Muwakanya, 2024 okuggulawo ekizimbe ‘Australia House’ nasaba obukulembeze bw’essomero okulowooza ku kuteekawo ekizimbe okujjukira Ssekabaka Daudi Chwa II olw’ekyafaayo ky’alina ku ssomero lino, n’ekyafaayo ky’Obwakabaka mu kutandika kw’essomero lino. Ndi musanyufu okukomawo leero okujulira nti okusaba kwange tekwawulirwa buwulirwa, wabula kukoleddwako” Katikkiro Mayiga.

Kamalabyonna Mayiga agamba nti okuteekawo ekizimbe ekibuddwa mu Ssekabaka Chwa II kabonero akalaga obumalirivu mu kukuuma omukululo n’okussa ekitiibwa mu Ssekabaka Daudi Chwa II ate n’okuwa eky’okulabirako eri abayizi bonna abayita mu ssomero lino.

“Ebizimbe bikola kinene nnyo ku kifaananyi abayizi mwe balabira essomero n’ebyo bya bayiga nga bali ku ssomero. Endabika y’amasomero abaana baffe mwe bsomera esalawo kinene ku nneeyisa zaabwe, endowooza n’engeri gye bakolagana n’abo be bawangaala nabo” Katikkiro Mayiga akubirizza abakulira amasomero okufaayo ku ndabika y’amasomero naddala nga bateekawo ebizimbe eby’omutindo.

Owoomumbuga asinzidde wano okukubiriza abayizi abafunye omukisa okusoma bagukozese bulungi kubanga ssi buli mwana nti agufuna. Wano avumiridde n’abo abatandise okwogera nti ebyenjigiriza tebisalawo buwanguzi bwa muntu mu bulamu, Katikkiro annyonnyodde nti mu Uganda NE mu Nsi yonna abantu abawangula mu bulamu nga tebasomye batono ddala, kyokka abo abasoma baggulirwawo emikisa okufuna amagezi, obuyiiya, okuyiga obukulembeze n’obusobozi okukola okusalawo okutuufu. Ategeezezza nti Obwakabaka obumalirivu okwongera okuwagira ebyenjigiriza okutumbuka bigase bamusaayi muto.

Ku mukolo guno ogw’okuggulawo ekizimbe kwe kubadde n’okusiima wamu n’okusiibula Canon John Fred Kazibwe abadde omukulu w’essomero lino okuva mu 2021 okutuuka kati mu 2026.

“Canon Kazibwe musajja mukozi nnyo era mukulembeze alina okwolesebwa, yonna gy’ayise azze alekawo enkulaakulana erabwako, ne bwe yali akulira Mengo SS yateekayo ebizimbe eby’amaanyi ate nga n’omutindo gw’ebyensoma yonna gy’abadde gulinnya buli kiseera” Katikkiro Mayiga atenderezza obukulembeze bw’ono gw’agambye nti akkiririza mu nkulaakulana y’amasomero. Amwebazizza okuweereza Kabaka wamu n’Obwakabaka n’amwagaliza ekiseera ekirungi yonna gy’agenda.

Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Samuel Stephen Kaziimba Mugalu y’akulembeddemu okubuulira ku mukolo guno, yebazizza Katonda olw’ebyo by’akozesezza Canon Kazibwe gw’agambye nti alese omukululo ogulimujjukirwako ebbanga lyonna. Amwebazizza enkulaakulana gy’atadde e Buddo nga bw’akoze n’ewalala yonna gy’ayise.

“Canon Kazibwe akulembedde bulungi, nga akwanaganya bulungi essomero, ekkanisa, Obwakabaka ate ne Gavumenti, ng’amanyi engeri y’okukwatamu abayizi, essomero n’aliddukanya mu bwesimbu n’ateekawo enkulaakulana ate ng’assa ekitiibwa mw’ebyo bye yasanga abalala bakola” Kaziimba agamba ono awummudde lwa mateeka gafuga buweereza wabula akyalina obukugu n’amagezi mangi era ajja kusigala nga agasa essomero lino.

Canon John Fred Kazibwe y’oyo mu kkanzu asitudde omukono

Canon Kazibwe yebazizza Katonda olw’ekisa ky’agambye nti kye kimuwaniridde mu buweereza bwe bwonna, yebazizza bonna abatambudde naye mu kumulungamya n’okukola naye ekiseera ky’aweerezza e Buddo. Ategeezezza nti ng’akwasiddwa essomeyo lino yayagala nnyo okulinnyisa omuwendo gw’abayizi era yateekawo ekisulo ekigazi eky’abawala, omuwendo gw’abayizi ne gweyongera naddala abawala ate nga n’omutindo mu bisomesebwa gwayongera okulinnya.

“Atannayitayita y’atenda nnyina okufumba, tugezezaako okutalaaga amawanga naddala ag’e bunaayira okusobola okubaako bye tuyiga tukomyewo wano tusitule ekifaananyi kya Budo okutuuka ku mutindo gw’ensi yonna, bye tukoze birabwako ate tetulese wadde ebbanja wewaawo ne ge twasangawo tulese tugasasudde” Canon Kazibwe.

Kazibwe yeyanzizza Kabaka olw’okukkiriza omwaka oguwedde liizi y’ettaka lino n’agizza buggya emyaka emirala 99, ono asabye abakulembeze b’essomero abasigaddewo okukuuma ebbugumu mu ssomero nga likula lidda mu maaso ate abayizi abakubirizza obutayisa budde ku nsonga yonna bafube okukola ekisinga obulungi kibayambe okubeera obulungi.

Rogers Katende ye Ssentebe wa bboodi ya Budo agamba essomero ku myaka 120 lyongedde okubeera waggulu ku mutindo era yebazizza Canon Kazibwe olw’ettofaali ky’atadde mu nkulaakulana y’essomero lino, era ono asuubizza nti baakwongera okukuumira ekifaananyi ky’essomero lino waggulu.

Canon John Fred Kazibwe ye mukulu w’essomero King’s College Budo ow’e 14, ono abaddewo okuva mi 2021 okutuuka lw’asiibudde mu 2026.

Omukolo guno gwetabiddwako Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriza n’Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.