Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Bulange
Obwakabaka bwa Buganda bugguddewo edduuka ku mutimbagano okutundirwa n’okugulwa ebintu eby’enjawulo, lino lituumiddwa Kibuga Online Shop era Katikkiro Charles Peter Mayiga alitongolezza mu Bulange e Mmengo.

Katikkiro akubirizza abagenda okuddukanya emirimu gy’edduuka lya Kibuga okukulembeza omutindo mu byonna bye bakola; okutunda ebintu eby’omutindo, ate nga babituusa mu budde ku bantu, n’okuyisa obulungi ababagulako ne Bannamikago be bakolagana nabo mu kufuna ebintu. Abakuutidde okubeera abesigwa mu nkola yabwe ey’emirimu batunde ebintu nga bya mutindo.
Katikkiro ategezezza nti ky’ekiseera abantu ba Ssaabasajja okwaniriza tekinologiya kubanga amawanga agakulaakulanye kwe gatambulira.
“Kirungi mu mulembe gunno Omutebi, tweyambise tekinologiya obulamu bubere bwangu. Tetukyetaaga kuzungazunga kubaako bye twagala ennaku zino, kubanga osobola okubifuna ku mutimbagano era bwobera toyagala kusigalira mabega osaanidde okutambula n’ebiriwo ku mbeera eyo,” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro Mayiga akunze Obuganda okwettanira Kibuga bagule ebintu eby’enjawulo nga bakozesa mutimbagano olwa tekinologiya, bawone okumala obudde mu mugotteko gw’ekibuga, akalippagano k’ebidduka n’ebirala ebiyinza okubakeereya.

Ye Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka Oweek Robert Waggwa Nsibirwa ategezezza nti enteekateeka ya Kibuga Online egwiira ddala mu Nnaamutaayiika w’Obwakabaka asoosowazza abavubuka n’asaba bonna abalina bye batunda okweyunga ku nteekateeka eno eya “Kibuga Online” basobole okwanguyirwa okufuna akatale k’ebyamaguzi byabwe. Ono naye akubirizza abagenda okukola emirimu mu KIBUGA okufuba ku mutindo gw’empeereza zonna.
Ssentebe wa bboodi ya Kibuga Online Mw. Newton Kaleera akunze abantu naddala abasuubuzi okweyunga ku kibanja kino batunde ebyamaguzi byabwe.
Kibuga, dduuka/kibanja ku mutimbagano omuntu kw’asobola okugulira ebintu ebyenjawulo ate n’oyo ayagala okutundirako ebintu bye ayanirizibwa okweggata okugweggatako. Kibuga era eri wansi wa kkampuni y’Obwakabaka eya K2 Telecom.
Omukolo gw’okutongoza gwetabiddwako Omulangira Crispin Jjunju, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Baminisita ba Kabaka, Bassenkulu b’ebitongole, Abakiise mu Lukiiko lwa Buganda, Bboodi ya K2 Telcom, Bannamikago bw’Obwakabaka ab’enjawulo n’abantu abalala.









