• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga atenderezza enkolagana ya Japan ne Uganda

Gambuuze by Gambuuze
October 15, 2020
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga atenderezza enkolagana ya Japan ne Uganda
0
SHARES
28
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza omukwano eggwanga lya Japan, lyegulina eri Obwakabaka wamu ne Uganda yonna okutwaliza awamu.

Bino Katikkiro Mayiga abyogedde asiibula Ambasada wa Japan mu Uganda, Kazuaki Kameda, mu nsisinkano eno ebadde mu Bulange e Mmengo olw’eggulo lwa leero ku Lwokuna.

Katikkiro Mayiga nga akwasa Kameda ebirabo

Kameda, Katikkiro Mayiga ne Kabbineeti wamu n’abakungu abalala era n’asiima Obwakabaka olw’okufuula obuweereza bwe obw’emyaka egisoba mu 10 okubeera egy’ekitibwa n’essanyu.

Bw’abadde amusiibula, Katikkiro Mayiga nti Buganda erina ebintu bingi byeyigidde ku ggwanga lya Japan nga bayita mu nkolagana gye babadde nayo ne Ambasada Kameda.

Owek. Mayiga agambye nti basuubira agenda okumuddira mu bigere, okutwala mu maaso enkolagana gye balina kisobozese Uganda okwongera okuyigira ku nkulaakulana ya Japan n’Obwakabaka bwe Japan, obumazeewo ebyasa ebiwera.

Ono yeebazizza Kameda n’eggwanga lya Japan olw’okuwaayo ensimbi okuzzaawo amasiro g’e Kasubi wamu n’ebyuma ebizikiza omuliro.

“Japan nga bwemumanyi erina Kabaka amaze emyaka mingi, nga naffe tumulina era ng’amaze emyaka mingi. Era  Japan y’emu ku abo abaatudduukirira ku mulimu gw’okuzzaawo Muzibwazaalampanga, baatuwa emitwalo 50 egya ddoola gya kyuma ekizikiriza omuliro.” Katikkiro Mayiga bw’agambye.

Mayiga annyonnyodde nti ensimbi zino zaaterekebwa mu kitongole ky’ebyobuwangwa eky’ekibiina kya mawanga amagatte ekiyitibwa UNESCO era nga bajja kuzikoseza ng’okusereka kuwedde.

Mu kusiibula, Ambasada Kameda ategeezezza nti Buganda erina ebintu bingi by’efaananya eggwanga lya Japan kubanga nabo mu buwangwa bwabwe ennyumba e Japan yabeeranga ya ssubi ng’eno y’ensonga lwaki baasitukiramu ng’amasiro gayidde.

Kameda alaze okusaalirwa olw’obutasobola kulaba ku masiro g’e Kasubi nga gawedde, naye n’ategeeza nti Obwakabaka bumusigadde ku mutima olw’emikwano gy’afunye e Buganda okuli; Ambasada Wasswa Biriggwa, Edward Kiyingi, Jean Mugerwa n’abalala.

Ambasada Kameda, Katikkiro n’abeebitiibwa

Katikkiro Mayiga ne Ambasada Kameda buli omu atonedde munne ebirabo omubadde n’ekitabo kya ‘7 key Transformation Ideas’ ekyawandiikibwa Katikkiro Mayiga, okusobola okujjukira n’okusiima emirimu n’enkolagana etuukiddwako.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.