Bya Ronald Mukasa
Kawanda – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akangudde ku ddoboozi olw’abazadde abeesulirayo ogwannagamba mu nsonga y’ebyenjigiriza, abamu nebatuuka n’okuleka abaana okutaayaaya ku byalo mu biseera eby’okusoma. Bano abaatulidde kaati nti okweyisa mu ngeri ez’ekigayaavu bwezityo babeera batemera ku baana babwe ttaka kubanga ebyenjigiriza y’ettaala eyamba okutangaaza ebiseera by’abaana eby’omumaaso era abakubirizza okugugumuka baweerere abaana baabwe ensi ebanguyire. Bino Owombuga abyogeredde ku ssomero li Mbogo Mixed Secondary School e Kawanda bwabadde yetabye ku bikujjuko by’essomero lino eby’okujaguza emyaka 25 nga libangula abaana b’eggwanga.
Kamalabyonna ajjukizza abeetabye ku mukolo guno nti Beene yalagira abantu okunyiikira okuweerera abaana era yebazizza abazadde abatadde ekiragiro gya Nnyinimu mu nkola. Mu ngeri yeemu Katikkiro yebazizza obukulembeze bw’essomero lino olw’okugunjula abaana okumala ebbanga eddene bwerityo n’abasibirira entanda ey’okunnyikiza empisa mu baana baleme kusomesa bya mu kibiina byokka. Kamalabyonna era akubirizza abayizi okufaayo ku misomo gyabwe ate beetabe ne mu nteekateeka z’essomero endala omuli ebyemizannyo, obukulembeze, okuyimba n’ebirala byagamba nti bigaziya emikisa gy’emirimu mu biseera eby’omumaaso.
Minisita ow’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko yebazizza nnyo obukulembeze bw’essomero lino olw’okukolagana obulungi n’Obwakabaka wamu n’abantu naddala abazadde nga kuno kwotadde n’okuwa abantu emirimu
Omukulu w’Essomero lino Hajji Hamid Lumu yeyanzizza Nnamunswa olw’ettofaali lyatadde ku by’enjigiriza bw’egganga kwossa enkolagana ennungi Obwakabaka bwe gyebulina n’essomero lino. Mbogo Mixed Secondary School yabbulwa mu Mulangira Nuuhu Mbogo ayali omusaale mu kutebenkeza Buganda ne Uganda n’okulafuubanira eddiini y’Obusiraamu mu Uganda.