• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga atabukidde abavubuka abalowooleza mu kubawa nebalemwa okukola, abalala abasabye okwekuuma Mukenenya

Gambuuze by Gambuuze
December 1, 2023
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga atabukidde abavubuka abalowooleza mu kubawa nebalemwa okukola, abalala abasabye okwekuuma Mukenenya
0
SHARES
38
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bukalasa – Bulemeezi

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga atabukidde abavubuka abazze mu kulera engalo n’okusabiriza nebalemwa okwekolera nga bwebaviiridde okukonziba kwenkulaakulana mu gwanga.

Okutuuka ku bino Katikkiro Mayiga abadde mu Bulemeezi ku ttendekero lya Bukalasa Agricultural College e Bulemeezi.Obuganda bwebubadde bukung’aanye okwetaba mukujaguza olunaku lw’ Abavubuka wamu n’ olunaku lwa kawuka akaleeta Mukenenya ku Lwokutaano.

Katikkiro Mayiga agamba ensangi zino  abavubuka balinda nnyo ebibisuubize mu kifo ky’okubaako byebayiiya okusobola okweyimirizaawo basobole nookusitula Buganda.

Wano abasabye okumalirira babeeko byebatandika olwo nebebaagala okubakwasizaako webanaatandikira kubanga tewali ajja kufuna maanyi gabayamba nga tebali kyebatandiseeko.

Owek. Mayiga asinzidde wano najjukiza abantu ba Kabaka nga bweyakwasa abavubuka omulembe ggwe era naategeeza nti kino kyali kitegeeza okunywerera ku nsonga semasonga ettaano nga bwazirambuludde okusobola okuzza Buganda ku ntikko.

Ono asabye abavubuka okufaayo ku myaka gyonna egyobuvubuka naye nga ekyo kirina kutuukibwako nga   balamu bwatyo naabasaba okwekuuma akawuka akaleeta mukenenya.

Minisita w’Abavubuka n’Ebitone mu Bwakabaka, Owek. Sserwanga annyonnyodde nti mu lusiisira lw’amateeka lwebategese bakizudde nti bannakigwanyizi bangi abeesomye okubba ettaka ly’ abantu wano Buganda omuli nelya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.

Owek. Sserwanga abaana abato  abasabye okwewala okwetaba mu bikolwa ebyekikulu kubanga ebirungi mu maaso era asabye abavubuka okufaayo ennyo okwekebeza akawuka akaleeta mukenenya.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda, Owek Joseph Kawuki ategeezezza nti bakyagenda mu maaso n’okwekeneenya nkola y’emirimu mu Buganda eruubirirwamu kusitula embeera z’abantu mu Bwakabaka bwatyo nasaba abantu okugiwagira.

Omwami w’essaza Bulemeezi, Kkaangaawo Ronald Mulondo agambye nti embeera ya kawuka akaleeta mukenenya ekyali nzibu eruuyi eno kubanga omuwendo gwabakalina guli wagulu nnyo kwekusaba bannabulemeezi okwongeramu amaanyi mu kukalwanyisa.

Ye Ssentebe w’ Abavubuka mu Buganda, Omuk. Baker Ssejjengo yeebazizza Kabaka olw’okwagala ennyo abavubuka naabateerawo n’omulamwa omukulu ennyo ogw’okwekuuma mukenenya olw’okuzimba Buganda kyagambye nti bagenda kugukwasa maanyi olw’okutaasa eggwanga.

Akulira abavubuka mu ssaza Bulemeezi,  Yosam Ntege asinzidde wano naategeeza nga obutabanguko mu maka naddala mu bavubuka bwebuvuddeko okusasaana kwa kawuka akaleeta mukenenya nga kino kyetaaga okweng’anga mu bwangu olw’okutaasa embeera.

Ssentebe w’ enteekateeka z’okukuza olunaku luno,  Owek. Andrew Mulwana Kizito ategeezezza nti mukujaguza olunaku luno bingi bikoleddwa mu Buganda naddala okutaasa abantu ba kabaka mu byobulamu  bwatyo naasaba abantu ba Beene obutaddirira ku nsonga z’obulamu bwabwe kuba Nnyinimu abaagala balamu.

Ku mukolo guno kubaddeko nookutongoza ennambika yaabavubuka mu bwakabaka” olwokutumbula embera yaabavubuka abomulembe omutebi eyomwaka 2020 era minisita wa Bavubuka ebyemizanyo nookutumbula ebitone Owek. Robert Sserwanga Ssaalongo annyonyodde lwaki kino kikoleddwa leero ate nga ennambika eno yatandika dda okukola.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.