• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga asisinkanye Ssaabalabirizi w’Abadiventi Dr. Moses Maka, aweze okwongera okunyweza obumu

Gambuuze by Gambuuze
November 1, 2023
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga asisinkanye Ssaabalabirizi w’Abadiventi Dr. Moses Maka, aweze okwongera okunyweza obumu
0
SHARES
43
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Ssaabalabirizi w’Ekkanisa y’Abadiventi omuggya, Pr. Dr. Moses Maka Ndimukika, wamu n’abakulembeze b’ekkanisa y’Abaadiventi ab’enjawulo nebawayamu ku nsonga ezitali zimu n’okumuyozaayoza ku myaka 10 gyamaze ne Ddamula.

Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu era Kamalabyonna Mayiga asinzidde wano naawera okunyweza obumu ku bantu ba Kabaka awatali kusosola langi wadde eddiini.

“Okutuukiriza obumu nina okukola obwenkanya ate okutuukiriza obwenkanya nina okukola ekituufu ate okukola ekituufu nina okulondoola amazima. Awo nno tufuba ne bannange  bano okunyweza obumu mu bantu ba Kabaka mu bwenkanya nga tukola ekituufu n’okulondoola amazima,” Kamalabyonna Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga annyonnyodde nti abantu ba Buganda bafaananako n’ekibatu kuba tewali afaanana mulala naye nga walina okubaawo obwenkanya mu bonna Buganda esobole okutambula n’abantu baayo abali mu mabala gabwe ag’enjawulo.

Ono yeebazizza  obukulembeze bw’abaadiventi olw’omulimu gwe bakola mu byenjigiriza n’ebyobulamu, abantu bangi nnyo abayise mu masomero gaabwe, agatasomesa baana kuyita bigezo kyokka wabula n’okubasigamu empisa y’obuntubulamu ekitangaazizza ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, amasinzizo gasaanye  ganyweze ensonga z’Obuwangwa naddala obutaliiko ndoliito naddala ebika, kuba ebyawandiikibwa biraga nti Yesu teyajja kuddibya wabula okutereeza nga kino kijja kuyamba ensi okwongera okutereera mu by’omubiri, eby’ensi n’ebyomwoyo.

Bano Kamalabyonna Mayiga abeebazizza olw’ebirabo byebamuwadde awamu nettu ly’obukadde 10 lyebawaddeyo eri eggwanika lya Buganda okusobola okutwala emirimu gya gavumenti ya Beene mu maaso.

Ye Ssaabalabirizi w’Abadiventi Pr. Dr. Moses Maka Ndimukika yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’obutabasosola wadde nga si bangi mu ggwanga naye nabateeka ku mwanjo mu nsonga z’Obwakabaka.

Dr. Maka Ndimukika agamba nti wadde embeera y’ebyenfuna si nnungi mu ggwanga naye Katikkiro Charles Peter Mayiga agezezaako okutetenkanya naleeta enteekateeka ez’enjawulo ng’Ettofaali erivuddemu ebibala.

Ensisinkano eno yeetabiddwako Sipiika wa Buganda, Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita w’Amawulire Israel Kazibwe Kitooke,  Minisita w’ensonga za woofiisi za Katikkiro, Noah Kiyimba ne Minisita Cotlida Nakate n’abasumba ab’enjawulo n’Abalabirizi b’ekitundu kya Buganda mu kkanisa eno.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.