
Bya Samuel Stuart Jjingo
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye omuyimbi Hajarah Namukwaya amanyiddwa nga Spice Diana naasaba bannabitone okusaayo omwoyo nga bakola era ebitone babitwalire ddala ng’ emirimu.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri, Omuyimbi Namukwaya bw’abadde agenyiwaddeko embuga okuyitiramu Kamalabyonna ku nteekateeka z’ekivvulu kye ekigenda okubeera ku Sheraton mu Kampala.
Owek. Mayiga agamba nti okuyimba mulimu era bannabitonne bwebajja ku Siteegi baba bazze kukola wabula ssi kusanyusa bantu n’olwekyo basaanye okussayo omwoyo n’amaanyi nga bakakalabya emirimu gyabwe.
Katikkiro akubiriza abayimbi okwewala efujjo n’entalo kubanga bitattana ebitone nabakowoola okugya abayambe abatererezeko ebibatawaanya.
Ono awadde bannabitonne amagezi okwewala bannabyabufuzi kubanga babakozesa bukozesa batuuke ku bigenderera byabwe bamale babasuleewo.
Wano Kamalabyonna Mayiga akowoodde bannabitonne okwenyigira mu nteekateeka z’okwekulakulaanya okugeza nga okuggula ettaka n’okuwola gavumenti ssente (Treasury bills and bonds) nga bakyali mu kisaaawe okusobola okweggya mu bwavu.
Katikkiro Mayiga agamba nti bwetaabe ntaanya etta amenvu, ajja kubaawo nga Spice Diana asanyusa abawagizi be.

Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga ategeezezza Katikkiro nga Spice Diana bwali omujjumbize mu nteekateeka z’Obwakabaka nga yetaaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka awamu n’enteekateeka z’Obwakabaka endala.
Owek. Serwanga akubiriza abayimbi okulowooza ku biseera byabwe eby’omumaaso nga bafumbira abantu obubaka obw’amakulu era bawe obukulembeze bwabwe ekitiibwa okwewala obuvuyo mu kisaaawe ky’okuyimba obuzze bweyoleka ensangi zino.
Omuyimbi Hajarah Namukwaya (Spice Diana) asabye Katikkiro okubeerawo ku mukolo gwe neeyebaza nnyo ttivi ya Kabaka BBS Terefayina ne leediyo ya CBS okumuwa ettutumu nga basasanya enyimba ze.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke.









