Bya Ssemakula John
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga asisinkanye Minisita wa Kampala, Hajati Minsa Kabanda awamu n’omumyuka we, Kabuye Kyofatogabye ne bateesa ku ngeri ez’enjawulo gye basobola okutumbulamu enkolagana y’enjuuyi zombi awamu n’embeera z’abantu mu Kampala.
Abakulu bano basisinkanye ku mbuga enkulu mu Bulange Mmengo ku Lwokutaano ng’ensisinkano eno yeetabiddwako n’Omutaka w’Ekika ky’Engeye, Kasujja Sheeba Kakande, Owek. Christopher Bwanika awamu n’abakungu abalala okuva e Mmengo ne mu kitongole kya KCCA.
“Era nze buli lwe ndaba abaweereza mu gavumenti eyaawakati nga bazze wano nfuna essanyu kuba toyinza kuzimba Uganda nywevu ng’omuntu tategeera gye bamuzaala. Omucholi alina okugenda mu Acholi, Omugisu e Bugisu n’Omuganda ajje e Mmengo. Omulimu gwe baabakwasa munene nnyo kubanga Kampala bwe bwenyi bwa Buganda eri ensi yonna.”
Katikkiro Mayiga abasabye okutumbula obuyonjo mu kibuga Kampala, kiyambeko okusikiriza abalambuzi awamu n’okutumbula eby’obulamu.
Owek. Mayiga abasabye okussaawo enkulaakulana ezinaayamba abavubuka okweggya mu bwavu nga balimira awafunda era n’abakakasa nga Buganda bwe yeetegese okutambulira awamu ne gavumenti okukyusa obulamu bw’abantu mu Buganda ne Uganda.
Mukuumaddamula abasabye batumbule obutonde bw’ensi nga basimba emiti ku mbalaza z’enguudo kubanga kyongera n’okunyiriza ekibuga.
Mu kwogera kwe, Minisita Kabanda annyonnyoddde nti beetegefu okukulaakulanya abavubuka n’okubasomesa ku kituufu kye balina okukola okuva mu bwavu ne bwe baba balina kitono.
Ono era asiimye Katikkiro Mayiga olw’okwongeramu amaanyi mu nkulaakulana ya Buganda ng’ayita mu pulojekiti ez’enjawulo omuli ettoffaali, emisinde gya Kabaka era n’amusaba okubuulirira abaagalana abaagala okufumbirigana okusooka okwekebeza ekirwadde kya Nnalubiri kuba buli lukya kyeyongera.
Hajjat Minsa Kabanda n’Omumyuka we baguze satifikeeti za bukadde okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.