Bya Shafic Miiro
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abantu okufaayo bakuume obutonde bw’ensi kiyambeko okutereeza ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso okuva ku ddungu erisobola okubalumba.
Obubaka buno Owek. Mayiga abuwadde asisinkanye Gavana wa Rotary District 9213 Rotary, Anne Nkutu n’abakulembeze ba Rotary mu Uganda ku mbuga e Mmengo ku Lwokuna bwebabadde bazze okumwanjulira enteekateeka y’okusimba ekibira kya Kabaka mu bifo eby’enjawulo n’emiramwa egyenjawulo gyebagenda okutambulirako, omuli n’okudduka emisinde gy’okulwanyisa kookolo (Rotary Cancer Run) nga 25 August.
Owek. Mayiga agamba nti emiti kitundu ku butondebwensi era obutondebwensi kye ky’obugagga ekisinga omuwendo Katonda kyeyawa Africa era singa kikozesebwa bulungi Africa esobola okuba engagga nokusinga amawanga amalala.
Ono alaze obwennyamivu olwa bamusiga nsimbi abazimba amakolero mu ntobazi, ate nga ensimbi bazirina ezisobola okugula ettaka ku lukalu. Bino bye bimu kwebyo ebisinga okukosa obutondebwensi nebutuuka nokusaanawo.
Bwatyo yeebazizza Rotary olwokutunuulira ebintu ebikosa obulamu bw’abantu nebabinogera eddagala.
Kulwa Ssentebe w’olukiiko olukwanaganya enteekateeka za Rotary mu Bwakabaka Oweek Ahmed Lwasa, obubaka bwe abuyisizza mu Owek Robert Waggwa Nsibirwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka ate nga yaliko President wa Rotary mu Uganda, anokoddeyo nti mu bbanga lya myaka etaano basobodde okusimba ekibira ky’emiti e Buikwe ne mu bitundu era nga kati baakyuusa enkola, tebasimba busimbi miti wabula bajirima.
Gavana Anne Nkutu, ategeezezza nti bavaayo ne kaweefube wokusimba ekibira kya Kabaka oluvannyuma lwokukizuula nti obutondebwensi bwonooneddwa nnyo era n’embeera y’obudde ekyuukakyuuka yandiba nga ereetebbwawo ensonga y’okutyoboola entobazi, okutema emiti, n’ebiringa ebyo.
Omukwanaganya w’Obutondebwensi mu Bwakabaka, Teddy Nabakooza Galiwango, , annyonnyodde enteekateeka y’ekibira bwenaabeera nga mu kifo kino mwa kubeeramu emiti egya buli kika naddala egyo gi Nansangwa egivaako eddagala, ebyokulya, ebibala, era buli Kika kyakubaamu n’omuti gwakyo.