• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Mayiga asisinkanye abakungu ba IMF

Gambuuze by Gambuuze
August 31, 2021
in Agafa e Mengo, Ebyenfuna
0 0
0
Katikkiro Mayiga asisinkanye abakungu ba IMF
0
SHARES
60
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asisinkanye omubaka w’ekitongole ky’ensi yonna ekiwola ensimbi ekimanyiddwa nga International Monetary Fund (IMF) mu Uganda, Izabela Karpowicz ne babaako ensonga ze bateesaako.

Abakulu bano basisinkanidde ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo leero ku Lwokubiri era wano Katikkiro Mayiga amulaze nsonga enkulu Buganda z’esimbyeko essira era omugenyi ono Katikkiro amwanjuliddwa Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Robert Waggwa Nsibirwa.

“Kirungi okubeera nti omubaka wa IMF otukyaliddeko okuzuula engeri gye tulwana  okukwasizaako gavumenti okutumbula embeera z’abantu baffe kuba abantu baffe abasinga bali mu byalo ate nga bavubuka era nga beetaaga okuyambibwako.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.

Okusinzira ku Owek. Mayiga mu zino mulimu okutuusa ku bantu amazzi amayonjo, okumalawo endwadde, okukola ku byenjigiriza n’ensonga endala.

Era ensisinkano eno egendereddwamu okugaziya nkolagana wakati wa Buganda n’ebitongole by’ensi yonna n’okwongera ku mikago Buganda gy’erina.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asinzidde mu nsisinkano eno ebadde mu kisenge kya Kabineeti wano ku mbuga enkulu Bulange e Mengo, abuulidde Karpowicz nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asoosowaza nnyo ensonga ezikwata ku bulamu bw’abantu be mu byenjigiriza, ebyobulamu, n’ebintu ebirala kubanga Kabaka ayala bantu.

Mukuumaddamula era agamba nti mu zino zonna Omutanda aba ayagala bantu be basobole okwebeezaaawo era nga zonna ziruubirirwa kuleetawo nkulaakulana nga mu zino mulimu Emmwanyi Terimba, okuweerera abaana nga bayita mu Kabaka Education Fund awamu n’okutumbula eby’obulamu nga balwanyisa endwadde enkambwe .

Omubaka wa IMF mu ggwanga, Izabela Karpowicz  ategeezezza nti ayize bingi ku Bwakabaka bwa Buganda naddala ku ngeri gye bufunvubiddemu okulaakulanya abantu ba Kabaka awamu ne Uganda.

Ono asuubizza okwongera okukolagana ne Buganda awamu ne Uganda kuba balabye ng’ezimu ku nteekateeka z’Obwakabaka zikwatagana n’ebiruubirirwa byabwe eby’okusitula bannansi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist