• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga asiimye omutima gwa Rotary ogw’okulumirirwa abalala

Gambuuze by Gambuuze
February 21, 2026
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga asiimye omutima gwa Rotary ogw’okulumirirwa abalala
0
SHARES
35
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Muyenga – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga yetabye ku kyeggulo ekitegekeddwa e Muyenga okwebaza bannalotale abawaddeyo eri ekittavu kya “Rotary Foundation” akakadde kamu n’emitwaalo kyenda eza doola okwongera okubudaabudda abantu abetaaga okubeerwa.

“Bulijjo nsanyuka nnyo okukolagana ne bannalotale kubanga omulimu gwabwe gulaga ekimu ku birungi eby’amaanyi eby’obuntu: okuwa essuubi mu kiseera ky’obuzibu. Mazima ddala, ekirabo ekisinga obukulu omuntu ky’asobola okuwa omulala kwe kumuzzaamu akamwenyumwenyu n’okumunyweza mu kukkiriza nti olunaku lw’enkya lujja kusinga ku ndala eziyise” Katikkiro Mayiga.

Kamalabyonna agamba nti okwewaayo kwa bannalotale, okutunuulira n’okugonjoola ebizibu by’abantu mu bitundu eby’enjawulo kisaanira okutenderezebwa ennyo.

“Mu nteekateeka nga okuwa abantu amazzi amayonjo, okusimba emiti, enteekateeka z’okugema, n’ebirala eby’obuyambi, Rotary ekyagenda mu maaso n’okuleeta enkyukakyuuka ey’omugaso era ey’olubeerera mu bantu baffe.” Katikkiro.

Owomumbuga yebaziza banna-Rotary olw’obuteemalirira mu buweereza “Service Above Self,” n’okuba ekitangaala ky’ekisa n’enkyukakyuka ennungi mu ggwanga n’obulamu bw’abantu.

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro ategeezeza nti okukyala kwa Pulezidenti wa Rotary mu nsi yonna okusookedde ddala kugenda kuleeta enkyukakyuka mu nsimbi ezibadde ziweebwa eggwanga olw’ensonga nti omukulembeze ono yenyigidde butereevu mu nteekateeka z’okugema n’okulambula emirimu egikolebwa Rotary ne kimuyamba okubaako by’ayongera okutegeera ku Uganda.

Ekittavu kya Rotary kye kiwagira ebibiina bya Rotary byonna okukola emirimu mu bantu nga ssente zino ze bawaayo zisigibwa okuzza amagoba olwo neziyambako okuwagira abantu abetaaga okubeerwa mu byobulamu, obutondebwensi, ebyenfuna, amazzi amayonjo n’abirala.

D9213 ne D2914 ziwaddeyo ddoola 1,900,000 okuyambako ku bantu nga omukolo guno gwetabiddwako Pulezidenti wa Rotary mu nsi yonna Mw. Francesco Arezzo, abakungu okuva mu gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka n’abantu abalala bangi nnyo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist