
Bya Francis Ndugwa
Kampala -Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde gavumenti amagezi eyongere ensimbi mu nteekateeka z’okutumbula ekirime ky’emmwanyi bweba nga eyagala bannayuganda bakulakulane.
Bino Owek. Mayiga abyogeredde mu nsisinkano gyabaddemu n’abekitongole ki Uganda coffee Development Authority (UCDA) bwebabadde bamukwasa ekyuma ekifumba kkaawa n’okuteekateeka kaawa enteekateeka.
“Omulimu gw’okulima emmwanyi mukulu nnyo kubanga ekirime ky’emmwanyi kiyamba bantu ba bulijjo, era twagala abalimi balabirire bulungi emmwanyi ze balima, bagatteko omutindo, olwo akatale katwanguyire nga tuteekayo ebyo ebiri ku mutindo,” Kamalabyonna Mayiga bw’aggumizza.

Kamalabyona agamba nti omuntu ayagala okukyusa eggwanga Uganda alina kusoosowaza byabulimi kuba bino byebisinga okuwa bannayuganda eky’okukola.
Ono era asabye gavumenti eyongera okukola obwakitunzi mu mawanga amalala okulaba nga eggwanga lifuna akatale kyebyo byetulima naddala emmwanyi.
Mukuumaddamula Mayiga akuutidde abalimi b’emmwanyi okufuba okulaba nga bongera omutindo kwebyo byebalima okulaba nga bifuna akatale.
Ye Omukungu wa Uganda Coffee Development Authority Gordon Katwirenabo, ategeezezza nti omukago gwebakola n’Obwakabaka gwagendereramu kukyusa embeera z’abantu naddala okutumbula ekirime ky’emmwanyi.
Kamalabyonna Mayiga abadde awerekeddwako Minisita w’Ebyobulimi n’Obweggasi, Owek. Hajji Amisi Kakomo, Owek. Israel Kazibwe Kitooke nabalala.









