Bya Francis Ndugwa
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye abantu okukomya okwekubagiza ku mbeera y’ebyenfuna ekoseddwa ennyo omuggalo ogwava ku kirwadde kya Ssennyiga Corona, naye basigale n’essuubi era bamalire okuddamu okusituka bwe baba baakugenda mu maaso.
“Embeera si nyangu naye oyo anaasigala waggulu y’oyo anaatetenkanya akatono k’alinawo kalyoke kaveemu ekinene. Enkoko Sseggwanga esooka kubeera ggi, maama n’alyoka amaamira eggi ne livaamu enkoko ennene. Bw’oba oyagala ebinene, sooka olowooze ku bitono.” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga, entanda eno agiweeredde mu Kampala mu musomo gwa NSSF ogw’okweddabulula okuva mu mbeera ya Corona mu ssabbiiti y’okuwuliziganya ne bakasitoma baabwe etuumiddwa ‘Customer Care Week’ ku Mmande.
Mukuumaddamula Mayiga ategeezezza nti waliwo obwetaavu okwogerako n’abantu okusobola okubazzaamu amaanyi n’essuubi kuba abasinga ebintu byabwe ne bbizineesi zaabwe ebyafa. Kyokka beetaaga okumanya nti wakyaliwo ebisobola okukolebwa ne baddamu okusituka nate.
Ono asabye abavubuka okubeera abatetenkanya nga bakyalina amaanyi basobole okusinziira baddemu bazimbe obulamu bwabwe bave mu by’okwekubagiza n’okulowooleza mu kubawa. Owek. Mayiga agamba nti singa bano bakola awatali kunyooma mirimu, basobola bulungi okugenda mu maaso.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, abantu balina okumalirira baleme kutya bizibu kuba buli mulimu gulimu okusoomoozebwa naye ne mu mbeera eno obuwanguzi bubeera bwangu nga basigadde beesigwa era abaagala ebyo bye bakola.
“Okweganya, okwesaasira tebiyamba bw’oba wazze emabega mu byenfuna.” Kamalabyonna Mayiga bw’alambise bannabbizineesi.
Abaagala okweddabulula mu byenfuna, Katikkiro Mayiga abawadde amagezi bakole ebyo bye balinamu obukugu ng’obulimi, obulunzi n’ebirala, kuba bino birina obusobozi okubalokola mu byenfuna.
Mukuumaddamula aliko n’entanda gy’awadde ebitongole mu ggwanga bwebiba tebyagala kuggalawo, nga bino abisabye okubaga enteekateeka ebeerawo okusobola okutambuza emirimu ne bwe baba basanze ebizibu era bafeeyo nnyo okukekkereza ensimbi baziteeke mu ebyo ebiteebereka.
Kamalabyonna asabye abantu okumanya nti ebiseera ebizibu ng’ebya Corona bijjiramu emikisa nga kino kyeyolekedde nnyo mu bantu ababadde mu by’omutimbagano n’okutambuza ebintu, kuba ensi eyo gy’eraze kati.
Ku bantu abatadde ekitongole kino ku nninga kibawe ku ssente zaabwe, Katikkiro Mayiga aba NSSF abasabye okwongera okumanyisa abantu ku ngeri ekitongole kino gye kikolamu era ensi emanye nti ssente NSSF z’etereka tezibeera awo wabula bazisiga mu bintu ebyenjawulo ng’eno y’ensonga lwaki basobola kuzifuna luvannyuma lw’akiseera ekigere.
Ono agamba nti walina okubeerawo enteekateeka ennungi etakosa bantu batereka wadde ekitongole kya NSSF.
Ate Omukungu wa NSSF, Apollo Mboowa awadde abantu abatereka ne NSSF amagezi, okubaako n’ekintu mwe balinze okuteeka ssente zaabwe kuba singa zibaweebwa nga tebalina kye bategese kuziteekamu ziba zigenda kubafa.
Omusomo guno gwetabiddwako n’ababanguzi abalala okubadde; Abbey Mukiibi omukozi ku leediyo ya CBS awamu ne Munnabyanfuna Simon Ssenkaayi nga ne bano basomesezza abantu ku ngeri gye basobol