Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga alayizza olukiiko lw’ abakulembeze b’ekibiina ki Nkobazambogo abaggya naakubiriza abavubuka okuvuganya ku bifo by’obukulembeze eby’enjawulo.
Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri era nga gwetabiddwako abantu ab’enjawulo okubadde ne Pulezidenti w’ekibiina ki Uganda Law Society (ULS) Isaac Ssemakadde.
Katikkiro Mayiga abakuutidde okukozesa omwoyo gwa Buganda ogutafa banywerere ku misomo olwo bajja kusobola okulya ensi eno n’okuggula emikisa gyabwe era bagabane n’ebifo ebyenjawulo eby’obukulembeze.
Owek. Mayiga alabudde abavubuka ku bantu ababatega ensimbi n’ekigendererwa eky’okubaggya ku mulamwa ogw’okulwanirira Obwakabaka.
Katikkiro Charles Peter Mayiga akalaatidde abakulembeze okubeera abakalabakalaba basobole okuvvuunuka ebibasomooza okusinga okwekwasa obusongasonga.
Ono agamba omukulembeze omulungi talina kwekwasa busongasonga nga afunye ebisomooza naye okubisalira amagezi naabivuunuka.
Ye Minisita w’Abavubuka emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga, asabye buli muvubuka afuna Omukisa okuweereza Ssaabasajja Kabaka okukola ennyo nga teyeebalira,Olwo emirimu gya Beene gitambule bulungi.
Wano Pulezidenti omuggya ow’ekibiina ekigatta bannamateeka ki ‘Uganda Law Society’ Isaac Ssemakadde yeyamye okubeera omuwulize eri Nnamulondo, era naasuubiza okutambula n’Obwakabaka mu nteekateeka zonna naddala ezikwata ku nsonga z’abavubuka.
Ssemakadde annyonnyodde nti ebimu ku bimu ku byagenda okuteekako essira kwe kulwanirira eddembe lya buli muntu basobole okweyagalira mu ggwanga lyabwe.
Ssentebe wa Nkobazambogo Omuwummuze, Kakeeto Hanington Sseremba ategeezezza nti mu bimu ku bituukiddwaako ebyenkizo mubaddemu okubugirizanga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwaabadde asiima okulabikako eri Obuganda.
Sseremba annyonnyodde nti basobodde okutongoza enteekateeka etuumiddwa Ettu, mwebagenda okuyita nga bannazambogo okusonda ensimbi ezigenda okutambuza Obwakabaka, n’Okulwaanyisa abalwanyisa Obwakabaka.
Ssentebe wa Nkobazambogo mu Uganda omugya Adrian Lubyaayi, akubye ebirayiro okukulembera banne , abasabye obutalinda muntu yenna mu lutalo lw’Okutaasa n’Okulwanirira Namulondo.
Akulira abavubuka mu Bwakabaka, Omuk. Baker Ssejjengo asinzidde wano naasaba abavubuka abalinako kyebalina omuli ettaka babeeko ebyamakulu bwebakolerako, olwo bezimbe, oba okulipangisa wonna gyebabeera basobodde.
Bannankobazambogo era bakiise embuga n’Ettu lya bukadde 4.6, okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.