• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga alambudde Abasaakaate ku  Hormisdallen ,  abasabye okunyweza obuntubulamu

Gambuuze by Gambuuze
January 17, 2024
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga alambudde Abasaakaate ku  Hormisdallen ,  abasabye okunyweza obuntubulamu
0
SHARES
39
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Gayaza – Kyaddondo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga alambudde abayizi abali ku ssomero lya Hormisdallen e Gayaza Kyaddondo nabakuutira okunyweza obuntubulamu bwebaba baagala okufuuka ab’omugaso.

Okulambula kuno Owek. Mayiga akukoze ku Lwakubiri nga abadde awerekeddwako Minisita w’ebyenjigiriza, ebyobulamu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko ne Ssenkulu wa  Nnabagereka Development Foundation, Omuk. Adrian Mukiibi.

“Twagala tulabe nti mufuuse bantubalamu naddala nga muyingidde Siniya esooka , bino byemuyize wano bijja kubayamba okubeera abantubalamu, aboobuvunaanyizibwa, banyiikivu, beesimbu, beerufu, abakola emikwano emirungi, okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubakwasiddwa” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.

Katikkiro Mayiga agasseeko nti omuvubuka bw’atandika okuvubuka n’omubiri gwe nagwo gukyuuka ng’eno y’ensonga lwaki bano balina okusalawo ebyo ebibayamba nga basemberera okuvubuka kuba okusalawo kwebakola kutegeeza kinene ku bulamu bwabwe obw’omu maaso.

 Abasabye beewale ebikolwa omuli, okukozesa ebiragalalagala kubanga byonoona ebiseera eby’omumaaso, obutasaayo mutima nga basomesa, obuteyonja nakyo kibi.

Abasaakaate  bamulaze byebayize omuli, okukola emigaati ne keeki, okutaputa ebyafaayo bya Buganda omuli n’emirembe gya ba Ssekabaka, amannya ga Kabaka, okufumba, okukola amanda, n’abato abali wansi w’emyaka 6-8 bamulaze bwebasoma ekitabo n’okuzannya.

Bano era naddala abali mu “Secondary” naabo abasemberedde okutuukayo, balaze Katikkiro emitendera egiyitwamu okusimba emmwaanyi, okuzongerako omutindo okutuukira ddala ku katale.

 Ekisaakaate kiggalwawo ku Lwomukaaga luno oluvannyuma lwa ssabbiiti bbiri nga abaana babangulwa mwebyo ebinaabafuula abatuuze aboomugaso eri eggwanga.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist