Bya Francis Ndugwa
Kampala
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, alabudde gavumenti ku kabi akayinza okuva mu bikolwa ebirinnyirira obuwangwa n’ennono z’Obwakabaka bwa Buganda, ebizze byeyoleka.
Kino kiddiridde poliisi y’e Mityana okukuba ttiyaggaasi mu b’ekika ky’Embogo abaabadde bakung’aanidde ku butaka bw’ekika e Mugulu mu Ssingo okwebaza Katonda olw’obuweereza bwa Jjajja Kayiira Gajuule bwe yakola ng’Omukubiriza w’Abataka okumala emyaka egikunukkiriza mu musanvu.
Okwebaza kuno kwatandise n’ekitambiro kya Mmisa ekyakulembeddwa Omusumba w’e Masaka eyawummula, John Baptist Kaggwa, wabula nga yakimaliddeko mu bugubi olwa ttiyaggaasi eyabadde akubiddwa.
Ku nsonga eno, Owek. Mayiga agambye nti omukolo gwategekedde nga abategesi bagoberera ebiragiro by’abasawo ebitangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona, beewadde amabanga, okunaaba mu ngalo wamu n’okwambala obukookolo nga tewali tteeka lye baamenye.
Ono annyonnyodde nti emikolo egibeera ku butaka bw’ebika tegisosola era nga gitaba abantu ab’ekika ekyo awatali kutunuulira ndowooza zaabwe za byabufuzi oba eddiini, nga kyabadde kikyamu poliisi okulemesa abamu ku bazzukulu okugyetabako olw’endowooza zaabwe ez’ebyobufuzi.
“Ab’Embogo baggwa mu biti ebyenjawulo, abavubuka n’abakadde era nga balina endowooza z’ebyobufuzi ez’enjawulo, basoma eddiini za njawulo naye bonna ba Mbogo. Noolwekyo Omukolo bwe gubeera ku butaka, kifaananako okugenda mu masinzizo kubanga Klezia eyingira abantu bonna, noolwekyo tuvumirira nnyo ebikolwa ebyakoleddwa,” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.
Owek. Mayiga asabye abakwatibwako ensonga zino okuzikwata n’obwegendereza baleme kutabangula mitima gy’abantu.
Agambye nti ebikolwa ebyekika kino ebityoboola obuwangwa n’ennono bisaanye obutaddamu kubaawo.
Omusumba Kaggwa eggulo yategeezzeza nti kino abadde takirabangako nga babagobaganya ku butaka bwabwe, kubanga wano we waabwe nga tewali gye bayinza kulaga.
Ono yannyonnyodde nti ebikolwa bino byamuleetedde ennyike naye n’akubiriza abaabaddewo okusabira eggwanga era n’akowoola n’abakuumaddembe okukozesa obulungi obuyinza obubaweebwa.
Kyategerekese nti, entabwe yavudde ku kya poliisi okufuna amawulire agalaga nti omu ku bazzukulu era Omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu yabadde waakwetaba ku mukolo guno.