• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga akuutidde abantu okwekebeza Ssukaali n’endwadde endala ezitasiigibwa

Gambuuze by Gambuuze
November 13, 2024
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga akuutidde abantu okwekebeza Ssukaali n’endwadde endala ezitasiigibwa
0
SHARES
207
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akuutidde abantu bulijjo okwekebeza endwadde ya Ssukkaali wamu n’ezo ezitasiigibwa bamanye bwe bayimiridde  kibayambe okugirwanyisa.

Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abutisse, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule amukiikiridde ku lunaku lw’okwefumintiriza ku bulwadde bwa Sukaali Obwakabaka bwe lukuziza mu ngeri ya kutegeka lusiisira olw’ebyobulamu oluyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu wansi w’omulamwa : “Obulamu obw’omutindo oguggumidde”

“Tukunŋŋanye wano, okumanyisa, okuziyiza n’okuwa amaanyi eri ffenna okulwanyisa obulwadde bwa Ssukaali olwo nno tubeere balamu abasobola okukola n’okuzimba Obuganda ne Uganda yonna okutwaliza awamu,”  Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza mu bubaka obusomeddwa Sipiika Luwaga Mugumbule.

Kamalabyonna annyonnyodde nti ekirwadde kya Sukaali kye kimu kw’ezo endwadde ezitasiigibwa era nga kikukwata totegedde nga bufaananako Puleesa, Kkookolo, Nnalubiri awamu n’obulwadde bw’omutwe nga bwekito abntu balina okufaayo okubwekebeza bamanye bwebayimiridde.

Owek. Mayiga  agamba nti okusinziira ku bakugu ssukaali alimu emitendera okuli ogusooka n’ogw’okubiri(Diabetes Type 1 and 2) awamu ne Ssukaali atawaanya abakyala abali embuto bwatyo n’asaba abantu okwetangira endwadde zino nga beewala omugejjo oguva ku ndya embi awamu n’obutakola dduyiro.

Abakuutidde bulijjo okulya emmere nga eddagala basobole okwewala okulya eddagala ng’emmere nga singa kuno bagattako dduyiro basobole okwewala endwadde y’omutendera ogw’okubiri  ng’eno esinga kutawaanya bakuze mu myaka.

Kamalabyonna yeebazizza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka olw’okutumbula eby’obulamu kuba yamaze dda okuggulawo amalwaliro abiri okuli Kalasa mu Bulemeezi ne Nsangi mu Busiro gayambeko okuwa abantu ba Nnyinimu obujjanjabi. Kuno kugattibwako amalwaliro amalala asatu agawedde okuzimbibwa e Mukungwe Buddu, Nyenga Kyaggwe ne Busimbi mu Ssingo ate nga waliwo n’eddwaliro eritambuzibwa mu masaza ag’enjawulo.

Minisita w’Ebyobulamu, Owek. Choltildah Nakate Kikomeko agamba nti Minisitule yakukola kyonna okutumbula obuweereza mu byobulamu eri abantu ba Ssaabasajja Kabaka bafune obujjanjabi obw’ekikugu nga bayitira mu nsiisira z’ebyobulamu ez’enjawulo.

Owek. Nakate agattako nti ku by’okujjanjabwa n’okukeberebwa bongerako okukunga abantu ba Nnyinimu okukuuuma obuyonjo beewale endwadde eziva ku bujama era n’abantu b’Omutanda omuli n’abaana abato bagemesebwe endwadde, bakung’aanye omusaayi n’okulaba nti obulamu abantu babukuuma bulungi.

Ono annyonnyodde nga bwe baagala okulaba nga abantu bakomya okukozesa ebiragalalagala ate beeyune ne Yinsuwa z’ebyobulamu abantu bafune obuyambi webabeera babwetaagidde.

Nakate yeebazizza Bannamikago abakwatizaako Obwakabaka okuwa abantu obujjanjabi obw’enjawulo era naawera okutalaaga Obwakabaka  abantu ba Nnyinimu babeere balamu kubanga omulamu y’akola.

Wabadde okusomesa abantu, okubakebera n’okwebuuza ku kirwadde kya Sukaali era wano abakugu basabye abantu obutagayaalirira kirwadde kino.

Abantu abazze mu lusiisira luno beebazizza Nnyinimu olw’okubateerawo omukisa guno era nebawera okutwala okuwabula kw’abasawo abakugu okubaweereddwa.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.