Bya Gerald Mulindwa
Namirembe
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akungubagidde omugenzi Janet Nakku Nsibambi, mwannyina w’eyaliko Ssaabaminisita wa Uganda, Prof. Apollo Nsibambi.

Bw’abadde mu Lutikko e Namirembe mu kusabira omwoyo gw’omugenzi leero ku Lwokusatu, Owek. Mayiga ategeezezza kyakusaalirwa kinene kubanga abazadde gye bakoma okukula ate abaana gye bakoma okwagala okubeera nabo.
Omugenzi Nakku y’azaala Paul Wamala Mbabaali amanyiddwa nga ‘Mbaba’ munywanyi wa Katikkiro Mayiga.
Owek. Mayiga annyonnyodde abakungubazi nti bulijjo omulimu gw’omuzadde omukulu kubeera kulabirira mwana we ng’amugunjula mu mpisa wamu n’okumwagala.
Mayiga alaze nti kino kirabikira mu buvunaanyizibwa bwabwe eri abaana baabwe.
Ye Ssaabawolereza wa gavumenti ya Uganda, William Byaruhanga nga y’asomye obubaka bwa Ssaabaminisita Ruhakana Rugunda, ategeezezza nti omugenzi abadde ayagala nnyo abantu era yafaayo okukuza abaana be mu mpisa n’okwagala.
Byaruhanga bw’abadde asoma obubaka buno agambye nti, omugenzi abadde kirabo eri eggwanga Uganda ne Amerika era nga bafiiriddwa nnyo.
Ate yye Capt. Mike Mukula agasseeko nti Omugenzi bamusabidde mu kitiibwa ekyawaggulu era ng’abadde maama, omusomesa ate ayagala Kabaka we n’asaba abalala okumulabirako.
Akulembeddemu okusabira omwoyo gw’omugenzi, Rt. Rev. Canon Justus Njagala Miwanda, asabye abakungubazi bulijjo okukola buli kimu nga bakimanyi nti ku nsi kuno bagenyi wadde nga wabeerawo ebibawugula.
Obwakabaka bukiikiriddwa Katikkiro wamu n’omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek Patrick Luwagga Mugumbule.
Omugenzi yafiirodde mu America gyebuvuddeko ng’aweza egy’obukulu 94.