• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga Akubye Abasiibi Akaama Obwakabaka nga Busiibulula Abasiraamu

Gambuuze by Gambuuze
February 20, 2026
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga Akubye Abasiibi Akaama Obwakabaka nga Busiibulula Abasiraamu
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga akubirizza abaddu ba Allah abali mu omutuvu ogwa Ramadan okunyweza obumu ne bannaabwe ab’enzikiriza endala zonna ng’akikaatiriza nti Kabaka ayagala nnyo abantu be bona babeere bumu.

Katikkiro Mayiga bino abyogeredde ku Mbuga y’Obwakabaka enkulu Bulange e Mmengo bw’abadde ku mukulo gw’okusiibulula abasiraamu ogutegekeddwa Obwakabaka bwa Buganda nga bweri enkola eya buli mwaka.

“Ssaabasajja Kabaka yasiima tubeere n’enteekateeka y’okusiibulula Abasiraamu mu Bwakabaka era ng’eno esimbye butereevu mu Ssemasonga ey’okutaano ey’obumu. Mu mbeera zaffe ez’obulamu tubeera n’ebitwawula; eddiini, eggwanga, ekikula n’ebirala. Kyokka okutegeera nti tuli bawuufu naye tulina okukolagana ky’ekisinga obulungi” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro Mayiga era asinzidde wano n’akubiriza abasiibi okweyisa obulungi ng’agamba nti omuntu bw’asiiba ate n’asigala ng’akola ebikyamu n’okuyisa obubi abalala olwo abeera akottokera busa, bwatyo n’asaba abasiibi bakole ebyo ebisanyusa Omutonzi waabwe. Yebazizza bonna abeetabye mu nteekateeka eno ey’okusiibulula Abasiraamu n’abaagaliza ekiseera ekirungi mu nnaku ezisigaddeyo.

Sheikh Yasin Kiweewa mu bubaka bwa Supreme Mufti wa Uganda Shiekh Muhammad Galabuzi bw’atuusizza, yebazizza nnyo Obwakabaka bwa Buganda olw’enteekateeka eno gy’agambye nti eyongera okunyweza obumu mu baddu ba Allah. Ono asiimye Obwakabaka kaweefube gwe buliko ow’okulwanyisa mukenenya naddala ng’abasajja be bakutte omumuli era naye asabye abaami okubeera abasaale mu kulwanyisa n’awokeera w’obulwadde bwa mukenenya ku lw’okutaasa omwana ow’obuwala.

Ssentebe w’Olukiiko olukulembeddemu enteekateeka y’omukolo guno nga ye Mumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Ahmed Lwasa yebazizza abagenyi bonna abeetabye mu nteekateeka eno ne bannamikago bonna abakwataganye n’Obwakabaka okuggusa enteekateeka eno.

Omukolo guno gwetabiddwako Baminisita mu Gavumenti ya Kabaka, Abataka Abakulu b’Obusolya, Ssabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Bassenkulu b’ebitongole, Bannamikago b’Obwakabaka nga bakulembeddwamu Airtel, Abamu ku babaka abayiseemu okukikirira abantu mu lukiiko lwe ggwanga olukulu, Bamasheikh ab’enjawulo n’abantu abalala bangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist