
Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abooluganda lwa Dr. Aggrey Kiyingi eyali omukugu mu kujjanjaba endwadde z’omutima eyafiira mu ggwanga lya Australia omwezi oguwedde.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri era wano Katikkiro Mayiga atenderezza emirimu egyakolebwa omugenzi okugasa Uganda ne Buganda awamu n’ensi yonna.
Abafamire ya Dr. Kiyingi babadde bakulembeddwamu muganda w’omugenzi era Omwami wa Kabaka atwala essaza lya Scandinavia, Owek. Nelson Mugenyi, ne Ssentebe w’ekibiina ky’Olulimi oluganda, Mw. Fred Lukabwe Kisirikko.
Kamalabyonna Mayiga asinzidde wano nayogera ku mugenzi, ng’omuntu eyasooka okulaga eggwanga Uganda obwetaavu bwokutambula mu nkola eya tekinologiya eriwo kati ng’ayita mu kampuni ya Dehez International. Era yayagala nnyo laadiyo ya CBS eganjise enkola y’ebyuma bikalimagezi.

Mukuumaddamula Mayiga yeebazizza abooluganda lwa Dr. Kiyingi abali mu buweereza bw’Obwakabaka, abakola obutaweera okunnyikiza kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko mu biti eby’enjawulo n’enteekateeka eziteekebwawo Nnyinimu.
Ye Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, asabye ab’enganda batwale omukululo gw’omugenzi gweyaleka mu nkozesa ya Tekinologiya asigale nga ajjukirwa.
Owek Nelson Mugenyi, kulwe nnyumba y’omugenzi, yeebazizza nnyo Obwakabaka okubabeererawo mu kiseera nga Dr. Aggrey Kiyingi afudde.









