• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga akomyewo okuva e Bungereza, akubirizza abali e Bulaaya okusigayo ensimbi

Gambuuze by Gambuuze
September 18, 2024
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga akomyewo okuva e Bungereza, akubirizza abali e Bulaaya okusigayo ensimbi
0
SHARES
24
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafik Miiro

Entebbe -Busiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga akomyewo okuva e Bungereza gyeyagenda n’abamu ku Baminsita b’Obwakabaka okutongoza ttabamiruka wa Buganda mu Bulaaya ng’eno bakulunguddeyo ennaku ssatu. Ttabamiruka ono agendererwamu okukumaakuma abantu ba Kabaka abawangaalira ebweru wa Buganda.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe, Kamalabyonna ategeezeza nti ensonga enkulu eyavuddeko okutongoza ttabamiruka ono kwe kulaba ng’abantu ba Ssaabasajja abawangaalira e Bulaaya bamanyisibwa ebifa eka, okumanya embeera gyebalimu n’okwongera okubakumaakuma nga bali bumu. Wano wategeerezza nti bajja kuddangayo buli luvannyuma lwa myaka ebiri ng’omulundi oguddako ttabamiruka ajja kubeera Germany.

Mukuumaddamula awabudde ababeera e Bulaaya ku nsonga y’okusiga ensimbi nga bano abateegezeza nti basobola okwegatta nebekulaakulanyiza wamu nga bayita mu kusiga ensimbi. Katikkiro agamba e Bulaaya eriyo abantu abakola emirimu egivaamu ensimbi eziwera omuli bannamateeka, abasawo, bayinginiya n’abalala ate nga akatale kaayo kagazi n’ensimbi zabwe nnungi bwozigeraageranya n’eza Uganda kale nga kino kisobokera ddala .

Owomumbuga asanyuse olwa bannayuganda abasinziira e Bulaaya nebalima kuno emmwanyi  n’abo abazimbye ebizimbe mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo era abakuudidde obutaddiriza. Bano abateegeezza nti kirungi okukoppa abagwira abasiga ensimbi ku mawanga ate amagoba ne bagakozesa okulaakulanya ensi zaabwe era abasabye okusiga embala eno mu baana baabwe

Ng’oggyeko okutongoza ttabamiruka, olugendo lw’e Bulaaya luno lukoleddwamu ebintu eby’enjawulo omuli okutuuza Omwami wa Kabaka atwala essaza lya Bungereza ne Northern Ireland wamu n’Abaami abalala , okusisinkana abavubuka, okwetaba mu kuziika kojja wa Kabaka Dr. Arnold Bisase abadde abeera e Bungerea era nga lwafundikiddwa n’okukyalira Omulangira wa Bungereza, Prince Edward Antony Louis

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist