Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akoowodde bannayuganda bonna okwetaba mu misinde gya Rotary Cancer Run, kiyambe okusaasanya amawulire agakwata ku kulwanyisa ekirwadde ki Kkookolo.

“Obulwadde bwa kkansa bwagala kufaanana ssennyiga corona kubanga tebulina gwebutaliza. Kkookolo kumpi Teri amanyi kwava,omuntu amukwata bukwasi. tetusobola kuddaawo netukungiriza.
Ekisinga obukulu kwekusala amagezi nga aba Rotary gebasala nebazimba woodi ya Kkookolo, “ Bwatyo Mayiga bweyategeezezza.
Bino Mukuumaddamula yabyogeredde mu nsisinkano ye ne banna Rotary abamusanze mu Bulange ku Lwokubiri nga bamwanjulirira enteekateeka y’emisinde gya Rotary Cancer Run egy’omwaka guno.
Katikkiro Mayiga yanyonyodde nga obulamu bwebujjudde ebizibu era nga singa bibeera birumbye omuntu abeera n’ebyokusalawo bisatu okuli; okubyogerako, okukkuluma oba okubisalira amagezi.
Mayiga yatendereza obuvumu banna Rotary bwebalaga bwebasalawo okulumba ekizibu kya kkansa nebasalawo bakisalire amagezi nga bazimba waadi abantu basobole okufuna obujjanjabi.
Ono yasabye abantu okujjumbira kaweefube w’emisinde nga buli omu agiddukira waali kubanga kiyambako okubunyisa amawulire agakwata ku kirwadde kino.
Katikkiro Mayiga yakuutidde abantu nga okulwanyisa kkookolo bwekitakoma ku kuzimba woodi, kukola bbanka oba okugula ebyuma ebikalirira abalina kkookolo naye kiri nnyo mu mbeera gyetweyisaamu.
Yabakubirizza okufaayo ku ndya yabwe, okukola dduyiro naddala emisinde nga gino egitegekeddwa kubanga giyamba kinene mu wetaasa ku kirwadde kino.
Emisinde gino Mubunabyalo ku murundi guno abategesi basalawo gibeere mu nkola ya ’Sayansi nga omuntu agenda kuddukira wonna waali awatali kukungaana nga bwekitera okubeera olw’ekirwadde ki COVID-19.
Ensimbi eziva mu misinde gino egivugirirwa bbanka ya Centenary, ziweebwayo okuyamba ku kujjanjaba abantu abalina ekirwadde ki Kkookolo.









