Bya Francis Ndugwa
Kasubi – Kyaddondo
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Buganda okugumamu katono ku nsonga y’okumaliriza omulimu gw’okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi kubanga kubulako katono nga akadde konna gano gakuggulwawo eri ensi.
Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde Kasubi bw’abadde alambula omulimu gw’okuzzaawo ennyumba Muzibu Azaala Mpanga wegutuuse ku Lwokutaano nakakasa nga omulimu guno bweguwedde ebitundu 90 ku buli 100.
“Twabakana n’omulimu gw’okuzzaawo ennyumba eno Muzibu Azaala Mpanga n’Embuga mu 2013, omulimu muzito nnyo ekyenkanidde awo naye buli lwetubadde tulambula tubadde tubalaga enjawulo, omulimu gukolebwa nabwegendereza olw’okukuuma ennono y’ennyumba eno n’emisosogy’obuwangwa egirina okutuukirizibwa.” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Kino kiddiridde ekitongole ky’amawanga amagatte ekivunanyizibwa ku byobulambuzi munsi yonna ki UNESCO okugya Amasiro ge Kasubi ku lukalala lw’ebifo by’obulambuzi mu nsi yonna ebiri mu katyabaga oluvannyuma lw’okukwata omuliro mu mwaka 2010.
Owek. Mayiga agamba nti bwagamba nti basemberedde okumaliriza omulimu guno abeera ayogera kirabika kuba kati emirimu mingi naddala egy’okuwunda giwedde nga kati ebisigadde byebyo ebitono ebisigaddeyo naye n’emirimu emirala egiwerekera giwa essuubi.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, mu bikyalina okutereezebwa mulimu okumala okuwunda munda, okukola ebiyigo, okuteekawo ekifo omuntu waalina okufunira amawulire agakwata ku Masiro gano, okukuma ekyoto ky’omunda ne wabweru nga bino bwebinaggwa bajja kwanja olunaku lwegajja okuggulwawo.
Owek. Mayiga asinzidde wano neyeebaza abantu bakabaka ababakwatidde Obwakabaka okuzzaawo Amasiro, Abakuuma Amasiro gano, Minisita Anthony Wamala era naasaba abantu ba Buganda okugunamu omulimu guno guggwe era basigale n’essuubi.
Ye Katikkiro wa Masiro gano Kasubi David Nkalubo asoose ku bikira Katikkiro Mayiga nga bwe waliwo bazaana babiri abavunde mu Bulamu bwensi mu bbanga lya ssabiti bbiri zokka era nasaba wabangibwewo enkola ennungamu eba esiibwawo okuwerekera abazaana ababa bavudde mu bulamu bwensi eno.
Ssentebe w’olukiiko olwalondebwa okuzzaawo Amasiro gano, Owek Hajji Kaddu Kiberu ategeezezza nti omulimu ogusigadeyo gwakwegendereza naye basuubira okugumaliriza mukiseera kitono.
Mu kulambula kuno Katikkiro Mayiga abadde awerekeddwako; Minisita w’Obwakabaka ow’Obuwangwa, Ennono era avunaanyizibwa ku Mbiri, Amasiro wamu n’ Ebyokwerinda, Owek. Dr. Anthony Wamala, Minisita w’Amawulire era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek Israel Kazibwe Kitooke, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule n’ abakungu ablala abakwatibwako ensonga eno.
Omulimo gw’okuzzaawo Amasiro ge Kasubi gwatandika mu mwaka gwa 2013 era nga kati gwakatwala ebbanga lya myaka 10 nga gadabirizibwa.