Musasi waffe

Katikkiro wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga awakanyizza enteekateeka y’abamu ku baana b’omugenzi Prince Paulo Job Kafeero eyali omuyimbi nnakinku ey’okumuziikula nti basobole okumujjako endagabutonde.
Bwabadde ayogerako eri Olukiiko lwa Buganda olwaleero, Mayiga agambye niti wano mu Buganda tetumala gaziikula bafu kuba tubawa ekitiibwa.
“Ensonga esobola okuziikuza omuntu kuba nga yaziikibwa mu kifo ekikyamu naddala nga gyebaamuziika sikye kika kye. Naye abaana ab’omugenzi bave mu by’okuziikula kitaabwe bagende bakole ebyabwe. Ebibalwanya ebya Paulo Kafeero naye teyabijja ku kitaawe,” Mayiga bwagambye.
Yagasseeko nti tekyetaaga nakuziikula mufu okufuna ndagabuotnde.
Yagambye ekyetaagisa kwekukebera abaana bonna bwebanaasanga ng’endagabutonde y’abaana abasinga efaanagana bajja kumanya nti baaluganda.
“Nalabye ennyumba ebalwanya wano e Kajjansi, oli muvubuka wa mulembe Mutebi ng’okaayanira nnyumba ey’ebisenge ebisatu ng’olina emyaka 25. Bagende abakole ebyabwe tebaziikula musajja oyo,” Mayiga bwagambye.
Abamu ku baana ba Kafeero balumiriza bannaabwe nti siyabazaala era baasinziira wano ne batunda ku bimu ku bintubye.
Wano abalala webaagendera mu kkooti okusaba lukusa baziikula kitaabye basobole okumalawo okubuusabussa kubuzaale bwabwe.









