• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Awadde Abasomi Amagezi

Gambuuze by Gambuuze
August 12, 2025
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Awadde Abasomi Amagezi
0
SHARES
231
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Bulange – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abaana abato okufaayo ennyo ku misomo gyabwe basobole okutuuka mu bifo by’obuvunaanyizibwa bye beegomba.

Kamalabyonna bino abitadde mu bubaka bw’atisse Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki bwabadde atikkula oluwala olusobye mu bukadde 61 okuva mu masaza 3; Kyaddondo, Buddu ne Kkooki.

“Tosobola kwegwanyiza kubeera mwami wa Kabaka, mwami wa LC oba Minisita wa Kabaka nga tolina buyigirize,” Owek. Mayiga asibiridde abaana b’amasomero entanda ya kunyweza kkalaamu, okufaayo ennyo mu kusoma kwabwe batuuke ku biruubirirwa byabwe.

Kamalabyonna yebaziza buli eyenyigiddemu mu mikolo gy’okujaguza amatikkira ga Ssaabasajja ag’omulundi ogwa 32 okuviira ddala ku bulungibwansi, ensiisira z’ebyobulamu, ez’amateeka, ebyoto na buli enteekateeka yonna. Ajjukiza Obuganda obubaka bwa Nnyinimu mwe yebaliza Abaami be olw’omulimu gwe bakoze okuyimirizaawo Obuganda, era n’okulabula okwegendereza abaseketerezi b’Obwakabaka, obutagulirirwa bannabyabufuzi nga babawa obunyebwa. Abasabye babeefumitirizeeko wakati mu kaseera nga betegekerera akalulu ka bonna.

Omumbejja Mariam Ndagire, Omwami w’eggombolola ya Mut II Nabweru ku lw’Abaami b’eggombolola agamba nti bayise mu mitendera okunoonya oluwalo olusobye mu bukadde 43 nga batongozza enkola gye baatuuma Mutongole Model, Nabweru Model ne Muyizi model era kino kibasobozeseza okukumaakuma abantu ba Ssaabasajja Kabaka nga batambulira wamu.

Oluwalo lwetabiddwamu bannabyabufuzi ab’enjawulo, n’amasomero ate eggombolola okuva mu masaza gano; Buddu: Mut XIX Kasasa, Kkooki: Mut I Kyalulangira, Mut II Kifamba, Ssaabagabo Buyamba, Ssaabawaali Byakabanda ne Mut IV Kiziba, ne Kyaddondo: Mut II Nabweru.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist