Bya Shafik Miiro
Kakira – Busoga
Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza abaddukanya kampuni ya Madhvani Group olw’obukugu bweboolesezza mu kutambuza emirimu mu myaka 80 kampuni yabwe gyeyakamala mu nsi n’enkulaakulana gyebatadde mu ggwanga nga bayita mu bintu eby’enjawulo. Bano era abeebazizza olw’okuwagira Obuganda okuyita mu kuwagira enteekateeka z’Obwakabaka era nabasaba okukuuma enkolaga gyebalina ne Buganda. Bino bibadde mu bubaka bwa Katikiro bwabadde kyalidde aba Madhvani Group e Jinja nga bano bamanyiddwa nnyo mu kukola sukaali wa ‘Kakira Sugar’
Eno gy’asinzidde nakubiriza bannayuganda okutandikawo kampuni ez’enjawulo ate balabire ku kampuni enguniivu ng’eya Madvani Group nabo basobole okuwangaalira mu bizinensi n’okukuuma omukululo. Mukuumaddamula agamba kyennyamiza bizinensi okuggwawo olwa nnannyini yo okufa ng’embeera eno erabikira nnyo mu bizinensi za bannayuganda.
Owomumbuga annyonnyodde ekimulambuzza Madhvani Group nga ategeezezza nti kigendereddwamu kunyweza enkolagana Obwakabaka gyebulina ne kkampuni n’okwongera okubaako byebayiga mu kuddukanya amakolero kubanga Obwakabaka bulina ebitongole eby’enjawulo era buluubirira n’okukola amakolero okwongera okuyingiza ensimbi ezitambuza emirimu gy’Embuga. Katikkiro Mayiga agamba ebimu ku biyamba Ensi okukola be basigansimbi kubanga bakola emirimu egigasa abantu ba bulijjo ne Gavumenti okutwaliza awamu era kirungi okubasembeza.
Ssenkulu wa Madhvani Group, Mayur Madhvani abotodde ekyama ekiyambye kkampuni eno okukula nga kino kiri mu kussa ekitiibwa mu mukozi waabwe asookerwako. Ono ategeezezza nti kino n’abaabasoka okukola mu kampuni eno baakibakuutira era ajulizza ebigambo kitaawe byeyamusibira. Mayur Madhvani agamba Kitaawe yamukalaatira nti bizinensi yonna okukula, erina okuba ng’ekwata ku bulamu bw’omuntu asookwerwako era nti oyo bw’abeera omusanyufu bizinensi etambula kubanga abo bebasinga okukola emirimu egya buli kiseera.
Mayur Madhvani ategeezzza Katikkiro nti tebakoma kukola mirimu givaamu nsimbi, naye baddiza ne ku bantu nga bayita mu kutandikawo amasomero, amalwaliro, n’enteekateeka endala.
Ku bugenyi buno, Katikkiro awerekeddwako Minisita ow’Amawulire, Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Omukwanaganya w’emikago mu kitongole ki Majestic Brands, Olivia Nakayenga n’abantu abalala era alambuziddwa ebintu eby’enjawulo ebikolebwa kkampuni eno omuli Sukaali, amasannyalaze, ebigimusa, omwenge n’ebirala.