
Bya Stephen Kulubasi
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, asabye gavumenti eyambeko ku bantu abeenyigira mu kunoonyereza ku bintu ebitali bimu naye naddala mu ddagala erisobola okutaasa eggwanga ku kirwadde kya Ssennyiga Corona.
Bino Kamalabyonna abyogedde aggulawo olukung’aana lwa Buganda olwategekeddwa akakiiko k’Obwakabaka aka COVID-19 akakulirwa Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, ku Lwokutaano ng’ayita ku mutimbagano za ZOOM.
“Okunoonyereza kwetaagisa ebintu bingi okusobola okuvaamu ebibabala noolwekyo abanoonyereza basaana okuyambibwako. Mu bintu ebingi bye beetaaga mulimu ebikozesebwa, ensimbi n’ebirala. Walina okubaawo enteekateeka okuva mu gavumenti ng’erung’amya amatendekero agavuddeyo okunoonyereza.” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Ono annyonnyodde nti abazungu abavumbula eddagala si banjawulo nnyo naffe wabula n’asaba obuwagizi buno buleme kubeera bwa byabufuzi nakukola mawulire.
Kamalabyonna era asabye gavumenti okulaba nti eddagala lyonna eribeera lizuuliddwa ligoberera emitendera egy’okugezesebwa nga terinnagezesebwa ku bantu era likeberwe ku mutendera gw’ensi yonna bwe tuba baakubaako kye tutuukako.
Okusinziira ku Katikkiro, ebivumbule ebisinga naddala eby’ekinnassayansi ng’eddagala, biyinza okuba eby’obulabe eri obulamu bw’abantu singa babikozesa ng’abakugu tebabikakasizza.
Mu lukung’aana luno Katikkiro mw’asabidde abavubuka okukozesa omutimbagano mu ngeri ez’enjawulo ezigasa obulamu bwabwe okusinga okumalirako obudde nga bajeregerera wamu n’okuvuma abantu abatutumufu.
Ono era asabye abantu okukendeeza ku kutya kwe balina ku kirwadde kya COVID-19 ekireseewo abamu okusosola abo abakifunako awamu n’abalala okutandika okukyejjanjaba awatali kusooka kukeberwa.
Kinajjukirwa nti oluvannyuma lw’okubalukawo kw’ekirwadde kya Covid-19, Obwakabaka bwa Buganda bwassaawo akakiiko aka Buganda Covid-19 Task Force n’ekigendererwa ky’okuyambeko ku bantu abali obubi basobole okufuna kyebalya.
Ono akuutidde abavubuka okufuba okukozesa obulungi omutimbagano mu kifo ky’okumalirako obudde nga bakola ebitagasa.
Ate ye minisita w’ebyobulamu mu Bwakabaka Dr. Prosperous Nankindu Kavuma akubirizza abantu okusigala ku bwerinde era banywerere ku biragiro bya Minisitule y’ebyobulamu okusobola okutangira ekirwadde kino.
Olukung’aana luno lwetabiddwamu abakugu mu nsonga z’ebyobulamu mu Buganda, baminisita ba Buganda abakwatibwako obutereevu era ng’ebinaava mu lukung’aana luno byakuteekebwa mu nkola, okutaasa abantu olumbulege lwa Ssennyiga Corona.









