Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Uganda obutasuula nnanga mu kulwanyisa ekirwadde kya coronavirus.
Bwabadde ayogerako eri eggwanga mu maka g’obwakatikkiro, mu Butikkiro e Mmengo, Mayiga agambye nti abantu bangi kati beerabidde nti tebalina kukwata bantu mungalo, obuteekwata mu nnyindo, akamwa n’amaaso, okwambala obukookolo wamu n’okussa mu nkola enkola ya tonsemberera.
Oweek. Mayiga ategeezezza nti ssenyiga kolona tannafuna ddagala.
“Ng’ojjeeko ennambika etuweebwa ab’ebyobulamu tulina okusigala nga tutambulira ku nnambika etuweebwa gavumenti; tulina okubitambulirako; era ekimu ku bbyo kwekusigala ewaka eri abo abatalina nnyo nsonga ebajjayo. Abaana mubakuumire awaka ate abazadde mufube okulaba nga beewala emize,” Mayiga bwagambye.
Asabye abaana okufuba okusomera awaka era n’abazadde okufuba okulaba ng’abaana bagoberera byebalaba ku terefaayina.
Mu birala, Mayiga asabye abantu okukomya okukungaana ku mikolo egy’enjawulo kubanga gyebakoma okukungaana abangi, gyebakomya okutambuza akawuka kolona.
“Ensi tejja kusaanawo nga tokoze mukolo naye bwekiba kyakufa nakuwona, mu kikole nga mu kungaana batono.
Ebiragiro bino byonna bikaluubiriza naye bitaasa bulamu bwaffe kubanga kyekyokulwanyisa kyokka kyetulinawo,” Mayiga bwagambye.
Agasseeko nti Pulezidenti Museveni bweyatoowolokosa ku mateeka g’omuggalo abantu abamu baalowooza kolona aweddeyo.
“Twagala abantu bakole basobole okweyimirizaawo, balabirire abantu baabwe, bakulaakulane badde ku ntikko, twagala Buganda ngeri ku ntikko mu byenfuna ne mu mbeera z’abantu naye twagala abantu basooke bataase obulamu,” Mayiga bwagambye.
Woosomera bino ng’omuwendo gw’abantu abaakazuulwamu kolona guweze 724 mu Uganda.