Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okutandika okuwandiika ebitabo kwebyo byebamanyi, byebasomye oba byebayiseemu.
Bwabadde atongoza ekitabo kya Dr Collin Ssentogo ku Hotel Africana mu Kampala, Mayiga agambye nti okuwadiika ebitabo kyekimu ku birabo ebikulu omuntu byayinza okulekera eggwanga lye.
“Ffenna tusoma, obusobozi tubulina, tumanyi bingi, tukoze ebintu bingi, tukoze emirimu mingi, tutambudde amawanga netugamalako, tulina amaka, tuzadde abaana, naye tutuula butuuzi awo, netubeerera ddala abasajja Abafirika. Collin Ssentogo ye takoze nga mmwe; awo nno ggwe oyawukanaye kuffe ffena n’otuwandiikira ku bulamubo era nkuyozaayoza nnyo,” Mayiga bweyagambye.
Katikkiro era yeebazizza nnyo Dr Ssentongo olw’obuweerezaabwe eri Obwakabaka bwa Buganda.
“Ebintu bingi ebikoleddwa mu Buganda tebitandise kati, bivudde mabega era ffe abazze oluvannyuma tuzimbira kwebyo abalala byebabadde bakola.
Dr Ssentongo tabadde minisita naye akoze emirimu gy’Obwakabaka ng’omuwi wa magezi n’okuteekateeka ebyenkulaakulana era gwemusingi naffe kwetutambulira.”
Ekitabo kya Ssentogo kyawandiise bakiyita, “The Unique Story of An Education Economist. I’m Glad I did it,”