Bya Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga yeetabye ku mukolo gw’okuwoowa abagole Hassan Muyanja ne Fahima Kayagi mu bufumbo obutukuvu mu muzikiti e Kibuli. Katikkiro agambye nti Hassan y’omu ku bibala by’obuweerezabwe kubanga azze agoberera byayogera nga abiteeka mu nkola naddala okukulaakulanya abavubuka n’obukozi, era y’ensonga lwaki azze ku mbagaye okumwebaza.
Katikkiro asabye abagole baleme kugendera kubyogerwa nti obufumbo buzibu, wabula bagonjoole ensonga mu ngeri ya kintu kikulu nebyo abalala byebalaba nga ebizibu bbo babinafuye.