Miiro Shafik
Gayaza – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga mu butongole y’agguddewo amaka amaggya ag’eddwaliro ‘Peoples Medical Hospital’ erisangibwa e Gayaza, lino lyazimbiddwa Dr. Frank Ndugga, ono nga y’akulira ekitongole ky’ebyobulamu mu ssaza Kyaddondo. Asinzidde eno n’akubiriza abantu abafunye Ssente okusiga mu byobulamu.
“Nneebaza abantu abasiga ensimbi mu byobulamu, amalwaliro gakyali matono mu Uganda kale abalina ssente kirungi okusiga mu kuzimba amalwaliro tutaase obulamu” Owek. Mayiga.
Katikkiro asanyukidde nnyo omutindo gw’eddwaliro Peoples Medical Hospital, ky’agambye nti kifo abantu mwe bagenda okuddaabiririza obulamu bwabwe era yebazizza Dr. Frank Ndugga ne mukyala we Carol Namatovu olw’obuvumu bwe bakozesezza okuteekawo ekizimbe amakula nga baluubirira okutumbula ebyobulamu mu ngeri egwira ddala mu nteekateeka y’obwakabaka empya Situla Omutindo.

Katikkiro alaze obwenyamivu olw’engeri abantu gye batafaayo bulungi ku bulamu bwabwe era aliko enoga 9 ezivaako obulamu bw’abantu okukosebwa.1. Okwewala okweraliikirira ennyo2. Okwekebeza emibiri gyaffe3. Obutalya mmere eyitiridde4. Okwewala okunnywa ennyo omwenge5. Okufaayo okwetangira endwadde6. Okunyiikira okukola dduyiro7. Okweyonja obulungi; emibiri gyaffe n’amaka gaffe8. Okuwaayo ekiseera okwesanyusaamu9. Okuwummula ekimala.
Minisita w’Ebyobulamu mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko yebazizza Dr. Frank n’abenju ye olw’okutandika eddwaliro lino ate nga ebiseera byonna awagira enteekateeka z’ebyobulamu mu Buganda. Ategeezezza nti obwetaavu bw’abantu mu byobulamu bungi nnyo, kyokka buli lwe wavaayo abantu nga Dr. Ndugga abateekawo ebifo ebituusa obujjanjabi obusoboka ate nga bwa mutindo nga Kabaka bwe yalagira kiwa essuubi nti ebyobulamu bijja kwongera okutumbulwa mu Buganda ne Uganda yonna.
Omwami w’Essaza Kyaddondo, Kaggo Hajj Ahmed Magandaazi yebazizza Dr. Ndugga Frank olw’enkulaakulana gy’aleese mu Ssaza Kyaddondo n’ettofaali ly’agatta ku byobulamu mu ssaza lino.

Dr. Frank Ndugga, omutandisi wa Peoples Medical Hospital asoose kwebaza Katonda ne bazadde be, abooluganda lwe, abatuuze b’e Gayaza n’abantu bonna abaliko kye bakoze okumusobozesa okuggusa omulimu gw’eddwaliro lino. Ono agamba nti ekirooto kyatandika kitono ddala, eddwaliro Peoples Medical Hospital yalitandikira mu kifo kitono ddala, kyokka embeera y’amalwaliro mu ggwanga naddala Mulago, yamuwaliriza naye okutandikawo ekifo ekinene ekikola empeereza z’obujjanjabi eziwerera ddala. Ono yebazizza Gavumenti ya Kabaka olw’okumukwatako obulungi mu buweereza bwe, era yebazizza okuweebwa omukisa okuweereza mu bitongole eby’enjawulo. Ono aliko n’ebirabo by’agabye eri abo abalina kye bakoze mu kuggusa omulimu guno.
Dr. Ndugga agamba nti mu kutandika balowooza nti eddwaliro lijja kubeera ku nsonga emu ya kuzaalisa kyokka mu luvannyuma bazuula nti embeera ennyingi ez’obujjanjabi ezeetaaga okukolwako, era baasalawo okwongera ku bikolebwa ku bikolebwa mu ddwaliro lino omuli; okuzaalisa, okukola ku ndwadde z’amaaso, amannyo, kkookolo, Polio, n’ebirala. Ategeezezza nti wano n’empeereza za insurance ziteereddwako amaanyi. Alaze nti balina n’empeereza ez’obwerere nga okugema abaana, okujjanjaba Polio n’ebirala.
“Peoples Medical Hospital yatandika n’endoowoza ntono, naye olw’emikago n’abantu be nsisinkanye tusobodde okugaziwa nga bwe tufaanana kati” Dr. Ndugga.
Banna-Rotary nga bakulembeddwamu President waabwe, Rtn. Geoffrey Kitakule, bebazizza munna-Rotary munnelaabwe Frank Ndugga olw’enkulaakulana gy’ataddewo ey’eddwaliro bwaguuga, n’etofaali ly’ateeka mu kulwanyisa obulwadde bwa Polio bw’agambye nti Rotary kw’ettadde amaanyi. Dr. Ndugga mu ddwaliro lino yateekamu ekisenge ewakolerwako ku bulwadde buno.
Eddwaliro Peoples Medical Hospital limaze ekiseera ekiwerako mu kisaawe ky’obujjanjabi, kyokka nga kino eriguddwawo lye yubudde n’ekizimbe bwaguuga n’empeereza z’obujjanjabi eziwerera ddala ate nga za mutindo.









