
Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Bannakibiina ki National Unity Platform bawagidde enteekateeka y’ emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ag’ emyaka 70 bwebaguze emijoozi gya bukadde 15.
Emijoozi gino gibakwasiddwa Kamalabyonna Charles Peter Mayiga agikwasizza akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Paalamenti era omwogezi w’ekibiina kino Hon. Joel Ssenyonyi ku Bulange mu Lwokusatu.
Bw’ abadde abakwasa emijoozi gino, Katikkiro abasabye okubeera ab’obuvunaanyizibwa mu nneeyisa yabwe nga bannabyabufuzi naddala eyo mu bitundu gye batambulira, batwale obuvunaanyizibwa okwekuuma n’okutaasa abagoberezi baabwe okukwatibwa mukenenya.

Avumiridde ebikolwa ebityoboola Eddembe ly’obuntu ebyalabikira mu kalulu ke Kawempe n’agamba nti ebikolwa ebyo byongera kuvumaganya Gavumenti kubanga akalulu ssi kakufiirawo era tekayinza kutwaliramu bulamu bwa muntu yenna.
Akulembeddemu bannakibiina bano, Hon. Joel Ssenyonyi asabye Gavumenti efeeyo nnyo okutumbula embeera z’Abasawo nga bawebwa omusaala omulungi ate n’okuteeka eddagala mu malwaliro kisobozese okutaasa obulamu bw’Abantu abafa olw’obulagajjavu.
Minisita Noah Kiyimba ne Israel Kazibwe Kitooke, nabo beetabye mu nsisinkano eno.

Abakulembeze ab’enjawulo mu National Unity Platform bawerekeddeko Hon. Joel Ssenyonyi okuli; Hon. Muwanga Kivumbi, David Lewis Rubongoya, Hon. Patrick Nsanja, Hellen Nakimuli, Abubakar Kawalya, Flavia Nabagabe, n’abalala era bawadde obubaka obwebaza Ssaabasajja Kabaka olwa kaweefube gwatadde mu by’obulamu ku lwa obulungi bw’Abantu be.