
Bya Miiro Shafik
Ssaabasajja Kabaka Asiimye n’aweereza obubaka bwa Eid Adhuha 2025, Obubaka bwa Nnyinimu bwe buno mu bujjuvu;
Tukulisa bannaffe Abayisiraamu okutuuka ku lunaku olw’ekitiibwa ennyo olwa Eid Aduha olw`omwaka 2025.
Mu kusaala okunaakolebwa okukuza olunaku luno, tusaba ba Imam ne Bamasheiki, okukuutira abantu baffe ensonga zino;
1. Obutakoowa kuwonga Obwakabaka bwaffe ne Uganda yonna mu mikono gya Allah atuyise mu mbeera zonna ezinyigiriza era eziremesa abantu baffe okweyagalira mu nsi yaabwe.
2.Newankubadde tukuuma emirembe naye, waliwo okunyigirizibwa kungi okukolebwa mu bugenderevu okunafuya ebyo bye tukkiririzaamu era bye tumanyi nga bya muwendo eri Obwakabaka ne Uganda yonna. Kyokka tuleme kusirika busirisi naye, buli we tufunira omwagaanya tubyogereko.
3. Mukubirize nnyo abantu obutayogera nsonga yonna nga tebamaze kwefumiitiriza mu biyinza okuva mu nsonga ezo, n’okutuukiriza obweyamo obuva mu bigambo ebyogeddwa, Obwakabaka bwagala mirembe era bujja kukolagana n’oyo yenna ayagaliza Obwakabaka ne Uganda emirembe.
Tubakubiriza obutava ku mulamwa kubanga, mpaawo kitakya.Tubaagaliza olunaku olw’emirembe n’essanyu.