• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kabaka Birthday Run 2023 :  Ab’ebyokwerinda balabudde abakozi b’efujjo

Gambuuze by Gambuuze
April 6, 2023
in Amawulire
0 0
0
Kabaka Birthday Run 2023 :  Ab’ebyokwerinda balabudde abakozi b’efujjo
0
SHARES
53
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Lubiri – Mmengo

Abakulu okuva mu bitongole ebikuumaddembe balabudde abo bonna abeesomye okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka nekigendererwa ky’okubba n’okukola efujjo ku bantu abagenda okwetaba mu misinde gy’omwaka guno.

Okulabula kuno kukoleddwa amyuka omwogezi wa Kampala n’Emirilaano, Luke Owoyesigire bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku nteekateeka z’ebyokwerinda z’olunaku lw’ emisinde gya Kabaka egigenda okubaawo ku Ssande nga 16, April 2023.

Olukiiko luno lwetabiddwamu abakulu mu Poliisi, ab’amagye n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku byokwerinda by’Obwakabaka ki KPU nga lukubiriziddwa RDC w’e Lubaga, Anderson Burora, abadde ayambibwako Omuduumizi wa Poliisi mu Kampala,  Steven Tanui, ate  Capt. Christopher Lutwama yabaddewp ku lw’eggye ly’Obwakabaka.

Owoyesigire agamba nti tebalina muntu yenna gwebagenda kukkiriza kutwala byabufuzi mu misinde gino kuba bagenda kukwatibwa.

Ono era asabye abantu bonna abanagenda mu Lubiri okugondera ebiragiro ebigenda okubaweebwa abakuumaddembe kuba byonna bireeteddwa lwa bulungi bwa bantu.

Wadde  olukiiko luno terwakkiriziddwamu bannamawulire naye Afande Owoyesigire alambuludde ebyo ebiteeseddwako.

Ye omubaka wa pulezidenti mu gomboloola y’e Lubaga Anderson Bulola , aweze okufafagana n’abantu naddala abavubuka abaagala ogufuula omuze okutabika eby’obufuzi mu misinde gya Kabaka.

Ono alabudde buli muntu anetaba mu misinde gino okwewala okwambala engoye eziraga ebibiina by’obufuzi byonna oba okuyimba ennyimba z’ebyobufuzi mungeri y’okwemulugunya oba okususuuta bannabyabufuzi.

Kati giri emyaka 10 kasookedde Bwakabaka butandikawo nteekateeka y’emisinde ng’ebimu ku bikujjuko by’Amazaalibwa ga Kabaka

Bino webijjidde ng’ abantu ab’enjawulo bakyagenda mu maaso n’okugula obujoozi buno ku nsimbi emitwalo 2 ng’era Nnyinimu yasiima emisinde gy’Omwaka guno gibeere wansi w’omulamwa ogusaba Abaami okukulemberamu olutalo ku Mukenenya okusobola okutaasa abaana ab’obuwala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist