Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, ayagalizza Abasiraamu Eid el Fitri ey’essanyu, n’abeebaza n’okusiiba kubanga ekisiibo kino kiraze nti abantu bonna benkanankana mu maaso ga Katonda. Era nga kibadde ekiseera ekya basiraamu okwefumiitiriza ku nsonga z’omwoyo awamu n’obulamu bwabwe obwabulijjo
Obubaka bwa Kabaka eri Abasiraamu yabutadde mu kiwandiiko eky’enjawulo ekifulumiziddwa olunaku lwaleero ku Lwokubiri n’agamba nti okusiiba kuyamba abantu okwezza obuggya wamu n’okulongoosa ku nkolagana yaabwe ne bantu bannaabwe.
Omutanda era abeebazizza olw’okusabira abakulembeze ab’enjawulo okusobola okuyisa obulungi abantu be bakulembera.
Era abasabye okugenda mu maaso n’okwegayirira Katonda era basabire ebisoomooza eggwanga omuli; endwadde, obutabanguko mu maka, n’abantu abasibirwa obwereere awatali kuwozesebwa.
Omuteregga asabye abasiraamu okusabira abo bonna abeeyagaliza, abeekkusa bokka awamu n’abavulubanira ebitali byabwe.
Abasiraamu wonna mu ggwanga basuubira okujaguza olunaku olumalako ekisiibo kya ‘Ramadhan’ esuubirwa okubaawo olunaku lw’enkya ku Lwokusatu oba Olwokuna singa omwezi gunaabera gulabise.