• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kabaka atenderezza eyali Ssebwana, Ponsiano Kawotto

Gambuuze by Gambuuze
March 3, 2026
in Amawulire
0 0
0
Kabaka atenderezza eyali Ssebwana, Ponsiano Kawotto
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Lubaga – Kyaddondo

Ssaabasajja Kabaka atenderezza emirimu egikoleddwa eyali Omwami we ow’essaza Busiro, Ssebwana Oweek. Ponsiano Kawotto (P.K) Ssengendo.

Ekyaliko Omwami wa Kabaka ow’Essaza Busiro Ponsiano Kawotto asomeddwa mmisa y’okusabira omwoyo gwe mu Lutikko e Lubaga, eno obubaka bwa Kabaka busomeddwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Oweek. Joseph Kawuki.

Omuteregga asaasidde nnyo nnamwandu Jessy Christine Ssengendo wamu ne bamulekwa, abazzukulu, ab’olugandan’abemikwano lw’omugenzi olw’okufiirwa omwagalwa waabwe, era amusiimye nnyo olw’emirimu gye yakolera Obwakabaka.

“Okumala ekiseera kiwanvu ddala, Omugenzi yali muweereza mu Bwakabaka mu Ssaza lyaffe ery’e Busiro: Tujjukira bulungi obuweereza bwe obwalimu ebibala era nga yakola bulungi emirimu gye wamu n’okukulaakulanya Essaza.” Kabaka Mutebi II.

Ku lwa Minisitule ya Gavumenti ez’Ebitundu Oweek. Joseph Kawuki agamba nti omugenzi yamuyigirako ebintu bingi ng’akyawereeza mu Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka omwali okukubiriza abaami ba Kabaka okubeera abakozi ennyo awamu n’okubeera n’ettendo nga abugiriza Kabaka we buli we yabeeranga agenze.

Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere agamba nti omugenzi abadde teyegaana ddiini ye era mumativu nti afudde awesezza ekkanisa ya Kristu ekitiibwa olw’ebyo by’akoze ne mu ggwanga lino bwatyo asabye buli muntu yenna okumulabirako.

Ssaabasumba mwenyamivu olw’omulembe oguliwo ogutassa kitiibwa mu biraamo wano waasabidde abaana n’abazzukulu obutakyusa bubaka obuwandiike omugenzi bw’alese.

Nnamwandu w’omugenzi, Jessy Christine Ssengendo annyonyodde engeri bba gye yafa mu ey’obulumi era amutenderezza olw’omukwano gw’alaze abaana be ate nabo ne bamwagala.

Mw. Ssetimba Magoba y’ayogedde ku lwa bamulekwa, atendereza nnyo kitaabwe olw’eddiini gy’abadde nayo, obugabirizi bw’abadde awa abantu ab’enjawulo, omukwano eri abantu era asinzidde wano ne yeyama ku lwa banne okutuukiriza kitaabwe kye yabasaba okutwala mu maaso nga okubeera obumu awamu n’okusabira abagenzi mu famire yaabwe.

Oweek. Ssengendo yafuna akabenje bwe yali ava mu bbanka ekimuviriddeko okulumizibwa okumala ebbanga lino lyonna era yafa ku lwakutaano nga 27, Mukutulansanja 2026 ng’aweza emyaka 85.

Okusaba kunno kwetabiddwamu ba Katikkiro abawummula; Oweek. Joseph Mulwannyamuli Ssemwogerere, Oweek. Dan Muliika, Oweek. Eng. JB Walusimbi, abakiise mu Lukiiko lwa Buganda; Oweek. Rev. Elijah Kyobe, Oweek. Lauben Kalibbala, abakungu abalala okuva mu gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka awamu n’eyawakati n’abantu abalala bangi nnyo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.