Bya Musasi Waffe
Ssaabasajja Kabaka asabye abakulembeze ku lukalu lwa Africa okusitukiramu beeyunge ku kaweefube w’okulwanyisa obulwadde bwa Nalubiri (Sickle cell).
Bino bibadde mu bubaka bwatisse Minisita w’enkulaakulana y’abantu era avunaanyizibwa ku by’obulamu, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma mu lukungaana lw’okutema empenda z’okulwanyisa Nalubiri ku Landmark Convention center, Lagos Nigeria. Beene agambye nti obulwadde bwa Nalubiri bukonzibya abaana naddala abali wansi w’emyaka etaano ekintu ekiremesa enkulaakulana. Wano wasinzidde najjukiza abafuzi ab’ennono mu Africa obuvunaanyizibwa bwabwe eri obulamu bw’abantu bebakulembera. Nga tannaba kusoma bubaka bwa Beene, Nankindu yasoose kulaga katambi akalaga emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka. Abantu ab’enjawulo abeenyigidde mu lukungaana luno beebazizza Omutanda olwa kaweefube gwatadde mu kutumbula eby’obulamu era nebasaba abakulembeze abalala bamulabireko. Mubuufu bwebumu Owek Dr. Prosperous Nankindu yasisinkanye President wa Nigeria eyawummula Olusegun Obasanjo naamutuusaako obubaka bwa Kabaka obwenjawulo. Yebazizza nnyo Kabaka olw’emirimu gy’akolera abantu.