
Bya Miiro Shafik
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agenze bweru wa ggwanga okusisinkana abasawo be okwongera okumwekebejja.
Katikkiro ayogeddeko eri bannamawulire ku lugendo lwa Kabaka luno era ategeezeza nti Maasomoogi okugenda ebweru w’Eggwanga ensonga enkulu yakusisinkana basawo be abeeyo okumwekebejja balabe embeera y’obulamu bwe bweyimiridde n’okwekenenya alipoota z’abasawo ba Kabaka abaakuno.
“Kuno Ssaabasajja alinako abasawo be kyokka mu nsonga z’obujjanjabi waliwo obwetaavu n’abasawo be ebweru okumusisinkana okulaba nga batambulira wamu” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro agumizza Obuganda nti embeera y’obulamu bwa Ssaabasajja egenze etereera nga ye kennyini Omuteregga bw’azze ategeeza Obuganda mu bubaka bwe obw’enjawulo era nga ne bw’abadde alabibwa abantu be emirundi gy’asiimye n’alabikako eri Obuganda.

“Obulamu bwa Ssaabasajja busoosowazibwa, nze bwensoosowaza mu mirimu gyonna gye nkola era abasawo baalina be basinga obulungi oba kuno oba ebweru” Owek. Mayiga
Mukuumaddamula asabye Obuganda nga Kabaka bwe yayita mu bubaka bwe obw’Amatikkira ne yeebaza abantu be abamusabira okwongera okussuuka, ne ku mulundi guno, abantu bongere kusabira Nnyinimu obulamu bwongere okutereerera ddala.