• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Hajj Sulaiman Tekaaka Teefe abadde ow’Eggombolola Mut. IV Kasawo aterekeddwa

Gambuuze by Gambuuze
February 11, 2026
in Amawulire
0 0
0
Hajj Sulaiman Tekaaka Teefe abadde ow’Eggombolola Mut. IV Kasawo aterekeddwa
0
SHARES
11
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Kyaggwe

Obwakabaka busiimye emirimu egikoleddwa omugenzi Hajj Sulaiman Tekaaka Kimera Teefe, abadde omwami w’eggombolola Mut. VI Kasawo mu ssaza Kyaggwe eyaseeredde olunaku lw’eggulo.

Obubaka bw’Obwakabaka obw’okusaasira, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Oweek. Joseph Kawuki abutisse Omwami w’essaza Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiriza, omubadde okwebaza Katonda olw’obulamu bw’awadde Hajj Teefe.

“Twebaza Katonda olw’obulamu bwe ate n’ebyo by’amukozesezza mu buweereza bwe ng’Omwami wa Kabaka owa Ggombolola. Tusaba Katonda omwoyo gwe aguwummuze mirembe ate n’okugumya abasigaddewo.” Oweek. Kawuki.

Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza atuusizza obubaka bw’Obwakabaka

Omwami w’essaza Kyaggwe Ssekiboobo Oweek. Vincent Matovu agamba nti Mw. Teefe abadde ayagala Obwakabaka bwe era asabye abantu bonna abasigadde mu buvunanyizibwa bw’abaddemu okusigala nga bakyakalabya emirimu bulungi ng’omugenzi bw’abadde akola.

Ssekiboobo agamba nti ensonga y’obujjumbize mu bulamu nkulu nnyo, agamba nti omugenzi abadde ayagala nnyo emmwanyi ze era asabye abaana be okukuuma ebintu n’emirimu gy’abadde akola obutazaawa.

Deputy Supreme Khadhi wa Greater Mukono Sheikh Sulaiman Kafeero alaze obwenyamivu olw’abantu abasazewo okukulembeza ebintu eby’okunsi ne balekerera eddiini yaabwe bwatyo akubirizza buli omu okulafubana okunyweza enkolagana ye ne Allah olwo Mungu naye abateeremu obwangu mu bye bakola.

Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka Mw. Luutu Moses nga akikiriddwa Omulongo Wasswa Bukenya yebaziza nnyo Hajj Teefe olw’okusitula ekitiibwa kya Kasawo bw’akunze abantu okuddamu okwenyigira mu kuwaayo amakula ga Ssaabasajja Kabaka.

Abaana b’omugenzi nga bakulembeddwamu Teefe Abdallah beeyanzizza Nnyinimu olw’okuwa Kitaabwe obukulu era bebazizza buli abaddewo mu bulamu bwe okutuusa Allah lw’amujjuludde.

Baganda b’omugenzi batenderezza nnyo muganda wabwe olw’okubakwatako n’abasindikiriza okukola era basiimye nnyo Obwakabaka okumulengera ne bumuwa obuvunanyizibwa bwe bagambye nti bakkiriza nti abukoze bulungi.

Abantu ab’enjawulo bamwogeddeko nnyo nga omuntu asikiriza abalala okuyingira mu buweereza bwa Ssaabasajja Kabaka, nga omuntu abadde n’ekissa Hajj Teefe abadde Mulangira, yazaaliibwa mu 1953 nga asereredde ku myaka 73 era abadde mukulembeze okuviira ddala nga yakava mu ssomero.

Hajj Sulaiman Tekaaka Teefe bw’abadde afaanana

Hajj Teefe aterekeddwa ku kyalo Kitunku Kitovu, ssaza Kyaggwe. Abamyuka ba Ssekiboobo; Oweek. Moses Ssenyonjo, Mw. Fred Katende, Omukiise wa Kyaggwe mu Lukiiko lwa Buganda Olukulu Oweek. Christine Nabukenya n’abantu abalala bangi nnyo beetabye mu kumuwerekera

Mw. Ssekanyu Henry alangiriddwa nga asigadde akuumirako Ssaabasajja Kabaka eggombolola eno.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.