Bya Ssemakula John
Kampala
Omuwabuzi wa Pulezidenti ku bikwekweto ebyenjawulo era mutabani wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Muhoozi Kainerugaba, ategeezezza nti tebajja kulonzalonza kulwanyisa Robert Kyagulanyi Ssentamu singa agezaako okuyitira mu makubo agatakkirizibwa okutwala obuyinza.
Muhoozi eyaduumirako eggye erikuuma Pulezidenti w’eggwanga erya Presidential Guard Brigade (PGB), kati eryafuuka Special Forces, obubaka buno abutadde ku mukutu gwe ogwa Twitter olunaku lwaleero.
“ Muto wange nakulaba nti tosobola kututiisatiisa. Tuli b’amaanyi nnyo okusinga bw’olowooza. Bw’oba oyagala lutalo tujja kukuwangula mu bwangu. Twagala emirembe naye bw’oba oyagala okutulwanyisa, tukulinze!” Muhoozi bw’agambye.
Ono okwogera bino Kyagulanyi abadde yaakakwatibwa okuggyibwa mu mmotoka ye n’ateekebwa mu mmotoka ya poliisi okutwalibwa mu maka ge e Magere.
Akanyolagano kano kabadde wabweru w’ekisaawe ky’e Kyambogo ewabadde okwewandiisa.
Wabula Kyagulanyi asoose kusuubiza nga bw’agenda okulaba ng’ayongeza omusaala gw’abapoliisi era afube okulaba ng’abaana baabwe basomera bwereere kubanga bakola omulimu gwa ttendo.
Ku bino Muhoozi atenderezza ab’ebyokwerinda olwokukola omulimu omulungi ne bateeka Kyagulanyi mu kifo ky’agwanira.